
Nawulidde nti omugagga yamutwala ku poliisi naye bwe namubuuza agamba nti alina emisango ku poliisi naye ku kyalo bamanyi nti omwana yafuna n'olubuto era omuggagga yatwala omuwala ewa ssenga we. Nkoze ntya kubanga njagala tusenguke tuve ku kyalo kubanga mpulira nswala.
EKIKULU kusooka kumanya kituufu oba nga ddala yamufunyisa. Okuswala okusingira ddala kwa mwami wo kubanga yasinga okuswala. Naye gwe omuswalirako.
Nkimanyi kiruma ab'oku kyalo ne bakulaba nga bakusongamu nti, oyo ye mukyala w'omusajja eyafunyisa omuwala w'omugagga olubuto. Naye ate tosobola kugaana bantu kwogera.
Ekisookera ddala omwami wo taswala okuba ng'asobola okukwana ku kyalo, ye bw'anaakwana awalala era ng'osenguka?
Omwami wo yalina okuyiga okuswala n'okwegendereza by'akola aleme kuswala n'okuswaza amaka ge. Kiba kirungi n'osigala ku kyalo ekyo n'otegeera ekituufu.