TOP

Obuwumbi bwa FUFA butabudde ababaka

Added 28th January 2021

ABABAKA ku kakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku byenjigiriza n’emizannyo, bali mu kwebuuza lwaki ekibiina ekiddukanya omupiira (FUFA) kiweebwa ettundutundu eddene ku nsimbi Gavumenti z'ewa emizannyo, era bagaala ebibiina ebirala biganyulwe mu nsimbi zino.

Opolot, (ku kkono), ne Rwabushaija nga bayanjula ekiteeso mu kakiiko.

Opolot, (ku kkono), ne Rwabushaija nga bayanjula ekiteeso mu kakiiko.

ABABAKA ku kakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku byenjigiriza n'emizannyo, bali mu kwebuuza lwaki ekibiina ekiddukanya omupiira (FUFA) kiweebwa ettundutundu eddene ku nsimbi Gavumenti z'ewa emizannyo, era bagaala ebibiina ebirala biganyulwe mu nsimbi zino.

Omwaka oguwedde, akakiiko kaayisa ekiteeso ekyongeza ensimbi eziweebwa akakiiko akaddukanya emizannyo mu ggwanga aka National Council of Sports (NCS), okuva ku buwumbi 16 n'obukadde 200, okutuuka ku buwumbi 26, wabula nga ku zino obuwumbi 10 bwaweebwa FUFA.

Jacob Opolot, ssentebe w'akakiiko ka Palamenti ng'awagirwa Margaret Rwabushaija (bakozi), baaleese ekiteeso okukomya obutali bwenkanya buno kisobozese ebibiina byonna okugabana ekyenkanyi ensimbi eziva mu Gavumenti.

Bino byabaddewo ku Mmande, mu lutuula lw'akakiiko okukola pulaani n'okuteesa ku biteeso by'ekitongole ky'ebyenjigiriza eby'okuteeka mu mbalirira y'omwaka 2021/22.

Opolot agamba nti kye kiseera Palamenti okwekenneenya ensimbi eziweebwa FUFA okuva mu Gavumenti nga zigabanyizibwa kyenkanyi n'ebibiina ebirala kubanga okumala emyaka FUFA ebadde efuna obuwumbi 10 buli mwaka ng'ebibiina ebirala bifuna busammambiro.

"Kye kiseera ensimbi zino zigabanyizibwe ebibiina byonna ebyemizannyo bwe tuba baakutuuka ku bye twagala. Ekyamazima ensimbi zino teziganyula FUFA ng'ekibiina ky'omupiira wabula abantu ssekinnoomu," Opolot bwe yannyonnyodde n'agattako nti: Ensimbi zino zisaana ziddemu okugabanyizibwa eri ebibiina byonna. FUFA esobola okusigala ng'efuna ezisingako naye ebibiina byonna birina okuweebwa ensimbi okusobola okubeerawo n'okukola emirimu gyabyo.

John Twesigye, omumyuka w'akakiiko kano, agamba nti ebibiina eby'enjawulo bizze byemulugunya eri akakiiko olw'obutaba na nsimbi olwa Gavumenti okuwa enkizo ebibiina ebimu.

Yayongeddeko nti FUFA eremerdwa okulaga by'ekola mu ssente ezigiweebwa nga n'ekisinga kwe kugabanya ensimbi zino kisobozese emizannyo gyonna okukula.

"Ng'akakiiko tugamba nti ensimbi zino ziweebwe ebibiina byonna. Tetukakasa oba nga FUFA ekozesa bulungi ensimbi zino sso nga wandibaddewo embalirira singa ekibiina kyonna kiweebwa ensimbi," John Twesigye bwe yagasseeko.

Wabula akakiiko ke kamu bwe kaali kateesa ku biteeso ebyateekebwa mu mbalirira ya 2019/20 ku nsimbi za NCS, kaagamba nti tekaalina buzibu na nsimbi ezaali ziweebwa FUFA.

Mu kiseera ekyo, Opolot yawagira engabanya eno ng'agamba nti FUFA yali egwanidde okuzifuna kubanga Uganda Cranes yali eyiseemu okuzannya mu mpaka za AFCON 2019, nti era ekiragiro kyali kivudde wa Pulezidenti Museveni.

Uganda erina ebibiina by'emizannyo ebisukka 50 omuli; Uganda Olympics Committee, Uganda Boxing Federation (UBF), Federation of Uganda Basketball Associations (FUBA), Association of Uganda University Sports (AUUS), Uganda Netball Federation (UNF), Uganda Athletics Federation (UAF), Uganda Volleyball Federation (UVF) n'ebirala.

Moses Magogo, pulezidenti wa FUFA.

Obuwumbi ababakaObuwumbi bwa FUFA

butabudde ababaka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...