TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nkooye abasajja abansabiriza sukkaali wange - Amiirah

Nkooye abasajja abansabiriza sukkaali wange - Amiirah

Added 29th January 2021

Omuyimbi Princess Amiirah akooye abasajja abamusaba laavu. Bano abasalidde amagezi bw’afunye empeta gy’ayambala okubuzaabuza nti mukyala mufumbo.

Omuyimbi Amiirah.

Omuyimbi Amiirah.

Bya Martin Ndijjo

Omuyimbi Princess Amiirah akooye abasajja abamusaba laavu. Bano abasalidde amagezi bw'afunye empeta gy'ayambala okubuzaabuza nti mukyala mufumbo.

Amiirah eyakuyimbira ‘Sibookya, Gwe mbikwasizza'' n'endala agamba nti ekimu ku bintu ebimumazeeko emirembe ennaku zino be basajja abamusabiriza omukwano kyokka bano nga banoonya kuloza ku sukkaali we badduke.

"Ennaku zino abasajja abayaaye banfukidde ekizibu. Ngezaako okubeewala nga mbalaga empeta eri ku mukono nti banange bantwala dda naye maama abamu tebakkiriza obalimba birala. Ntuuse ne ku mbeera okuba nti sikyakwata ssimu ya muntu nga sirina nnamba ye mu ssimu yange ate ne kiraasi kati nsazeewo okugirinnyisa osanga bantya" Amiirah bw'agamba.

Okwogera bino abadde ayanukula ekibuuzo ekyamubuuziddwa wayimiridde mu nsonga za laavu era ddi lwasuubira okulaga abawagizi be omusajja amulya obwongo.

Amiirah agamba okusalawo omusajja gw'awa obulamu bwe n'okukkiriza okumukuba embaga bino ayagala kubikola ng'awezezza emyaka 40 kyokka bw'abuuziddwa kati gy'alina azzeemu nti "nakoma okubala emyaka gyange nga nnina 21"

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abazinyi nga basanyusa abantu.

Kibadde kijobi nga Fr. Kyak...

EMBUUTU zibuutikidde ekifo ekisanyukirwamu ekya John Bosco Ssologgumba e Lukaya mu Kalungu. Zino zipangisiddwa...

Bannyabo

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde ...

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde batugobya abaami baffe?

Akeezimbira

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto en...

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto entuufu gy'osaanidde okuyiwa ku kizimbe.

Bannyabo; Nakazinga ng'annyonnyola

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe b...

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe bakugaana omwami weeyisa otya?

Kakooza ng’alaga bwe yabuuse ekikomera.

Poliisi eyogezza eyakwatidd...

POLIISI eyogezza omusajja eyakwatiddwa ku by'okumenya n'okubba amaka we bazaala omugenzi Ssaabasumba Cyprian Kizito...