TOP

Amagye gasudde Tumwine mu palamenti

Added 31st January 2021

Amagye gasudde Gen. Elly Tumwine mu palamenti gy’amaze emyaka 25 ng’omu ku babaka 10 abakiikirira UPDF. Mu kalulu akaabadde ak’ebbugumu ababaka b’amagye bonna basuuliddwa okuggyako Gen. Katumba Wamala.

Aba UPDF nga balonda abannaabakiikirira mu palamenti. Baabadde mu nkambi y’e Bombo.

Aba UPDF nga balonda abannaabakiikirira mu palamenti. Baabadde mu nkambi y’e Bombo.

Bya Joseph Makumbi                                                                                                                                                      Amagye gasudde Gen. Elly Tumwine mu palamenti gy'amaze emyaka 25 ng'omu ku babaka 10 abakiikirira UPDF. Mu kalulu akaabadde ak'ebbugumu ababaka b'amagye bonna basuuliddwa okuggyako Gen. Katumba Wamala. 

Gen Elly Tumwine.

Ababaka abapya kuliko abakazi basatu; Col. Dr. Victoria Nekesa, Maj. Dr. Jennifer Alanyo ne Lt. Col. Charity Bainababo ow'eggye erikuuma pulezidenti (SFC) era omukuumi wa Muky. Janet Museveni. Abakazi baavuganyizza bana ne basuulako Lt. Col. Susan Mwanga.

Gen. Yoweri Museveni ye yabadde omugenyi omukulu mu kulonda okwabadde mu nkambi e Bombo ku Lwokutaano. Yasoose kubuulira bamagye ensonga musanvu z'ayagala bakulembeze mu bye bakola ne bwe banaaba mu palamenti.

Gen. Muhoozi.

Ensonga esooka kuwa magye bikozesebwa ebyomulembe gafuuke nnamba emu mu Afrika. Ensonga endala nga bwe ziddiring'ana kuliko okukola enguudo z'emmotoka n'eggaali y'omukka; amasannyalaze; Ebyobulamu, okwongeza emisaala gya bannassayansi, enkulaakulana y'abavubuka n'abantu babulijjo. N'abajjukiza nti amagye galina ababaka mu palamenti kusoosoowaza nsonga za ggwanga.

Lt. Col. Charity Bainababo.

Ekirala balina okuwuliriza ebizibu by'abantu era babikoleko. Ezo z'ensonga abaakola konsitityusoni kwe baasinziira okuwa amagye ebifo 10 mu palamenti. Abalala abaalondeddwa kuliko; Gen. David Muhoozi omuduumizi wa UPDF, Gen. Edward Katumba Wamala Minisita w'Ebyentambula n'emirimu, Lt. Gen. Wilson Mbasu Mbadi ye mumyuka w'omuduumizi w'amagye, Lt. Gen. Peter Elwelu aduumira eggye ly'oku ttaka, Lt. Gen. James Mugira akulira amakolero ga UPDF, Maj. Gen. Henry Matsiko omuluhhamya w'ebyobufuzi mu magye ne Maj. Sam Kavuma amyuka omuduumizi w'eggye ly'oku ttaka.

Col. Dr. Victoria Nekesa.

Ababadde bakiikirira amagye abaasuuliddwa kuliko; omwogezi wa UPDF, Brig. Gen. Flavia Byekwaso; Brig. Felix Kulayigye, Lt. Gen. Pecos Kutesa, George Innocent Owula; Francis Takirwa, Susan Lakot Oluni, Evelyn Asiimwe Bulegyeya. Abaavuganyizza mu kalulu ne bawangulwa kuliko; Lt. Gen. Charles Otema Awany, Lt. Gen. Charles Lutaaya, Lt. Gen. Andrew Gutti, Maj. Gen. Sam Kiwanuka, Maj. Gen. Sam Okiding, Brig. Gen. James Kinalwa, Brig. Gen. Michael Kisame, Brig. Gen. Francis Chemo, Brig. Gen. Ogik Bob Paskiesky. Brig. Gen. Byekwaso yategeezezza Bukedde nti okulonda bagenero si kipya kubanga n'ababaddeyo abasinga babadde bagenero okuggyako babiri bokka.

Abaleeteddwa baduumizi ab'enkizo mu magye era kino abatunuulizi b'ebyobufizi n'amagye baakitapuse ng'ekigendereddwa okutwala amaanyi g'amagye mu palamenti kubanga abaduumizi bonna ab'oku ntikko babatutte okuli n'omuduumizi w'amagye yennyini.

Ababadde mu palamenti ye Bano be bamu ku basuuliddwa Amagye gasudde Tumwine mu palamenti 10, babadde basaba obudde okugenda okwebuuza ku Bakama baabwe ku nsonga enkulu ezireeteddwa nga zikwata ku magye, kati be balina okwebuuzaako beetuukidde.

Ekirala tewakyaddayo kubaawo bikolwa bya ffujjo mu palamenti kubanga abalondeddwa balina obuyinza okulagira amagye okukolerawo mu kiseera kye kimu bonna balina amagye agabakuuma agalina okubeera ku palamenti. Okugeza omuduumizi w'amagye awerekerwa kabangali bbiri eziriko abajaasi 10 buli emu (bonna awamu 20).

Ensonga endala ge magye okuwa we gayimiridde ku nsonga enkulu mu ggwanga nga bino byogerwa bagakulira bennyini so si basigire baabwe. Kyokka Byekwaso yagambye nti okusindika bagenero mu palamenti wadde nga balina enkiiko zaabwe gye bateeseza eby'amagye, babasindise kuteesa bizimba ggwanga kubanga palamenti teri kulwana.

Noolwekyo tewateekeddwa kubaawo kutya kwonna. Gen. Tumwine abadde mu palamenti okuva NRM lwe yajja mu buyinza ng'ekyali NRC. Ate okukiikirira amagye yakutandika mu 1996 era okuva olwo y'abadde ssentebe w'akabondo k'ababaka b'amagye mu palamenti. Erinnya lye lyasembeddwa addeyo kyokka n'asuulibwa mu kalulu akaakubiddwa olukiiko lw'amagye (Defence Council).

Kigambibwa nti olukiiko olwalonze lwasinzeemu mugigi omuto abaalonze be bakola nabo oba ababadde mu bifo eby'amaanyi mu biseera we bayingiridde amagye. Tumwine bamutunuulira ng'aluddeyo. Ekirala alina ekkubo eddala erimutwala mu palamenti nga minisita, ssinga Pulezidenti aba amuzzizza mu kabineti. Tumwine ye Minisita w'obutebenkevu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mabiriizi ng’agasimbaganye ne Ssaabalamuzi Dollo (ku ddyo).

▶️ Ssaabalamuzi Dollo ale...

SSAABALAMUZI Alfonse Owinyi Dollo agaanidde mu musango gwa Kyagulanyi Ssentamu n'agamba nti, yadde yawolerezaako...

Kyagulanyi ng’ayogera ku kuggyayo omusango.

Bobi okuggyayo omusango kik...

JUSTINE Kasule Lumumba, ssaabawandiisi wa NRM alangidde omubaka Robert Kyagulanyi obwannakigwanyizi olw'okuggyayo...

Abamu ku bannannyini masomero abeetabye mu lukiiko.

▶️ Ebisaliddwaawo mu lukii...

ABAKULIRA amasomero g'obwabannannyini bapondoose ne bakkiriziganya ne gavumenti okugaggulawo nga March 01, 2021...

Sipiiika (wakati) n’ab’amasomero.

▶️ Ab'amasomero ga nassale...

EKIBIINA ekigatta ebitongole ebikola ku nkuza y'abaana bagenze mu Palamenti ne beemulugunya olwa gaumenti okugaana...

Abatuuze ne poliisi ga bali we battidde Amolo.

▶️ Asse mukazi we n'amutem...

ASIKAALI ku kitebe kya UMEME e Mpigi asozze mukazi we ebiso mu bulago n'amutta oluvannyuma n'amutemako emikono...