TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omutembeeyi awakanyizza obuwanguzi bwa Uhuru mu Kampala

Omutembeeyi awakanyizza obuwanguzi bwa Uhuru mu Kampala

Added 31st January 2021

Omutembeeyi Isaaya Kavuma, omu ku baavuganya ku bwammeeya wa Kampala Central awakanyizza obuwanguzi bwa Salim Uhuru n'agamba nti akalulu yakabba.

Salim Uhuru.

Salim Uhuru.

Bya Steven Kiragga                                                                                                                                        Omutembeeyi Isaaya Kavuma, omu ku baavuganya ku bwammeeya wa Kampala Central awakanyizza obuwanguzi bwa Salim Uhuru n'agamba nti akalulu yakabba.

Kavuma.

Kavuma yagambye nti mu bifo bingi abeebyokwerinda baagobawo baagenti baabwe ekyawa Uhuru omukisa n'alangirirwa ku buwanguzi.

Yagasseeko nti munnakibiina kya NUP, Hamdan Ssemugooma ye muwanguzi omutuufu era n'awa amagezi addukire mu kkooti kuba ye mwetegefu okuwa obujulizi. Kavuma ku ky'obutembeeyi agattako okubeera Paasita mu kkanisa emu e Nansana.

Yasabye banne bwe baavuganya Uhuru okumwegattako bamukube mu mbuga gattako akakiiko k'ebyokulonda, Bannakampala basobole okufuna mmeeya omutuufu gwe beerondera. Bwe twatuukiridde Uhuru ku ssimu yagambye nti abantu abalala baamuyozaayoza ng'atuuse ku buwanguzi kyokka ono Kavuma bw'aba ayagala kugenda mu kkooti, takirinaako buzibu, agende banaasisinkanayo.

Kyokka Ssemugooma owa NUP, yagambye nti ateekateeka bujulizi agende mu kkooti kuba obuwanguzi bwa Uhuru bwalimu emivuyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mabiriizi ng’agasimbaganye ne Ssaabalamuzi Dollo (ku ddyo).

▶️ Ssaabalamuzi Dollo ale...

SSAABALAMUZI Alfonse Owinyi Dollo agaanidde mu musango gwa Kyagulanyi Ssentamu n'agamba nti, yadde yawolerezaako...

Kyagulanyi ng’ayogera ku kuggyayo omusango.

Bobi okuggyayo omusango kik...

JUSTINE Kasule Lumumba, ssaabawandiisi wa NRM alangidde omubaka Robert Kyagulanyi obwannakigwanyizi olw'okuggyayo...

Abamu ku bannannyini masomero abeetabye mu lukiiko.

▶️ Ebisaliddwaawo mu lukii...

ABAKULIRA amasomero g'obwabannannyini bapondoose ne bakkiriziganya ne gavumenti okugaggulawo nga March 01, 2021...

Sipiiika (wakati) n’ab’amasomero.

▶️ Ab'amasomero ga nassale...

EKIBIINA ekigatta ebitongole ebikola ku nkuza y'abaana bagenze mu Palamenti ne beemulugunya olwa gaumenti okugaana...

Abatuuze ne poliisi ga bali we battidde Amolo.

▶️ Asse mukazi we n'amutem...

ASIKAALI ku kitebe kya UMEME e Mpigi asozze mukazi we ebiso mu bulago n'amutta oluvannyuma n'amutemako emikono...