
Nsereko Mutumba.
HAJJI Nsereko Mutumba eyali omwogezi w'Obusiraamu e Kampalamukadde yagambye nti abantu Pulezidenti Museveni baawa ebifo mu Buganda tebamuyambye kukola era kye kimu ku byavuddeko NRM okukola obubi mu Buganda.
Yagambye nti n'obutafa ku bavubuka, abasinga obungi ne baba nga tebalina mirimu nakyo kya kabi nnyo wano mu Buganda era kikoze kinene okunafuya NRM.
. Nsereko yalabudde Pulezidenti Museveni ku bantu abafuuka babbulooka mu gavumenti ye nga bamutwalira abantu aboolubatu.