
Nambooze ng’akwasa Kyagulanyi ssegwanga y’enkoko. Emabega we ye Rev. Bakaluba Mukasa ate asooka ku kkono ye mubaka omulonde Fred Ssimbwa.
Bya BENJAMIN SSEBAGGALA ne LAWRENCE KITATTA ROBERT Kyagulanyi amanyiddwa nga ‘Bobi Wine' agambye nti mu nteekateeka ze, talinaamu kya kulonda akulira ludda luvuganya n'alumiriza nti Bannayuganda baamulonda nga Pulezidenti waabwe era kkooti egenda kusala amazima.
"Sirina nteekateeka ya kulonda ba RDC kubanga abo tugenda kubawera. Enteekateeka gye nnina yaakulonda Baminisita, omumyuka wa pulezidenti, Katikkiro wa Uganda," Kyagulanyi bwe yaggumizza. Yagasseeko nti, " Ensonga twazitutte mu kkooti ey'oku ntikko bwe zinaalema okugonjoolwa tujja kuddayo mu kkooti y'abantu kubanga tesalangako musango mu bukyamu".
Yasinzidde mu makaage e Magere ku Mmande ng'asisinkanye abakulembeze ku mitendera egy'enjawulo okuva e Mukono n'emiriraano abaakulemmbeddwaamu Betty Nambooze ne Rev. Bakaluba Mukasa.
Nambooze yategeezezza nti ekibiina kyali kibaweerezza obukadde 25 bazikozese okukuuma akalulu kyokka bo ng'abakulembeze beekolamu omulimu ne bakuuma akalulu konna kubanga kaali kaabwe kye baavudde basalawo ssente bazikwate bazizzeeyo zikole emirimu gy'ekibiina emirala.
Wabula Bobi yagambye nti foomu zonna kwe baalangirira akalulu (‘DR form') zonna NUP yazifuna era bagenda kuziteeka mu maaso ga kkooti esalewo eky'okukola.
AYANUKUDDE PULEZIDENTI KU BY'OBUSOSOZE Yayanukudde Pulezidenti Museveni ku nsonga y'okusosola mu mawanga nti amuwulidde emirundu mingi ng'agamba nti abantu tebaamulonze mu bitundu bya Buganda kubanga basosoze mu mawanga, ng'era yalumbagana Klezia nti Bafaaza baabuulira ebikyayisa gavumenti kubanga baavumirira ettemu.
"Emirundu egiyise gyonna Abaganda babadde beesimbawo naye ng'abantu babalekawo ne balonda ye (Museveni) lwaki omulundi ogwo teyabayita basosoze!" Kyagulanyi bwe yaggumizza.
Bobi nga tannaba kwogera, Rev. Peter Bakaluba Mukasa, ssentebe wa disitulikti y'e Mukono omulonde yeebazizza Kyagulanyi nti "Ssebo Kyagulanyi kaweefube gwe waleeta muyitirivu ne Museveni amutya kubanga olaba ogatta nze Bakaluba ne Nambooze! Kino kiyitirivu. Nkukakasa eggombolola 18 zonna ezikola Mukono waziwuuse ng'abalala bagoberera, bannange Kyagulanyi ng'oli wa mukisa.
Kati bw'obeera obala disitulikiti za Buganda ne Mukono ogibala era ne Museveni gy'ali akimanyi. Nze nali wa NRM. Bakaluba olwamalirizza, Nambooze n'akwata omuzindaalo; Ssebo ffe tetunnaba kuggwaamu ssuubi kubanga ne Trump yasooka kukola bw'atyo kyokka tukimanyi bulungi nti akakadde tekafa kamu ku kyalo.
Tewali muntu ayinza kugamba nti abantu baalonda bye batamanyi gwali muggundu. Ekyokulabirako, waliwo abantu e Mukono twabawa manvuuli kyokka bwe baamala okugikwata ne baddayo ne batandika okukukuta ne bali, abo, abantu baabagobye.
Baamuleetedde enkoko, amatooke, ebikajjo ne bagattako nti n'obukadde 25 ekibiina bwe kyaweereza e Mukono okukola mu kalulu baasazeewo okuzizzaayo. Fred Simbwa Kaggwa omubaka wa Nakifuma Omulonde, Hanifa Nabukeera Luswata be baasoose okunnyonnyola enkonge ze baasanga mu kalulu.
Erisa Mukasa Nkoyoyo meeya wa Mukono omulonde yayogedde ku lwa banne nti Mukono baaginunudde.