TOP

ManU enoonya muzibizi okuggumiza ekisenge kyayo

Added 9th February 2021

KAWEEFUBE w’okuwangula ekikopo kya Premier sizoni ejja, ManU emutadde mu kukansa muzibizi anaayongera okuggumiza ekisenge kyayo.

Konate ne Upamecano.

Konate ne Upamecano.

KAWEEFUBE w'okuwangula ekikopo kya Premier sizoni ejja, ManU emutadde mu kukansa muzibizi anaayongera okuggumiza ekisenge kyayo.

Omutendesi wa ManU, Ole Gunnar Solskjaer atunuulidde Ibrahim Konate owa RB Leipzig gw'ayagala okukansa mu katale akajja ayongere amaanyi mu kisenge mu kaweefube waabwe okuggumiza ttiimu ye.

Everton yavudde mabega okulemagana ne batabani ba Solskjaer ggoolo 3-3 mu gwa Premier ekyayongedde okulaga nga ManU bw'eterina kisenge kinywevu.

Kino abatunuulizi bangi kye bagamba nti kye kigenda okusubya ManU ekikopo kya sizoni eno.

Omuzannyi ono ow'emyaka 21, Chelsea ne Liverpool nazo zimutunuulidde okumuleeta bongere amaanyi mu ttiimu zaabwe.

Wadde nga omuzannyi ono amaze akaseera ng'atawaanyizibwa obuvune, emipiira 12 gye yaakazannya sizoni eno amatizza, ekivuddeko ttiimu ez'enjawulo okumusongako okumugula.

Omuzibizi wa RB Leipzig omulala, Dayot Upamecano ye yasooka okukwata ttiimu za Bulaaya omubabiro kyokka bakama be ne bagaana okumutunda.

Kigambibwa nti bw'anaaba waakutundibwa, ttiimu eteeweze bukadde bwa pawundi 38, tebajja kugiwuliriza.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr.Tamale

Fr. Tamale waakuziikibwa Bu...

Fr.  Joseph Tamale 39 afudde oluvannyuma lw'okutawaanyizibwa ekirwadde kya Puleesa n'ensigo. W'afiiridde, abadde...

Omutaka Gabunga, Mubiru  (wakati) ne Benon  Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

Bannaddiini musse ekitiibwa...

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono. ...

Betty Maina (ku kkono) , minisita Oryem ne Amelia Kyambadde oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano.

Gavt. ya Uganda ne Kenya zi...

GAVUMENTI ya Uganda ne Kenya zitadde omukono ku ndagaano egendereddwaamu okumalawo emiziziko egibaddewo wakati...

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...