TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abatuuze beekalakaasizza olw'omwana eyafiiridde mu mwala

Abatuuze beekalakaasizza olw'omwana eyafiiridde mu mwala

Added 10th February 2021

"Amazzi gaatuyitiriddeko ne gatuuka awaabadde omwana ne gamukuluggusa mu mwala."

BYA LAWRENCE MUKASA

ABATUUZE b'e Kasubi zzooni I mu munisipaali y'e Lubaga bavudde mu mbeera ne basuula emisanvu mu luguudo nga balaga obutali bumativu eri abakulembeze olw'okulemererwa okubazimbira omwala gwe bagamba nti gwakafiiramu abaana basatu.

Kyaddiridde enkuba eyatonnye ku Lwokutaano n'ejjuza omwala ogwawula Kasubi ne Kawempe ne mufiiramu omwana Fabrice Kisuubizo 10, abadde abeera ne jjajja we. Ssenga w'omwana ono agamba nti enkuba olwatandiise ne bamuyingiza mu nnyumba olwo bbo ne badda wabweru okulwanagana n'amazzi agaabasazeeko nga gatandise okutwala ebintu oluvannyuma lw'omwala okujjula ne gubooga.

Abatuuze nga beekalakaasiza mu luguudo wakati
Abatuuze nga beekalakaasiza mu luguudo wakati

Ono agamba amazzi gaabayitiriddeko ne gatuuka awaabadde omwana ne gamukuluggusa mu mwala. Baakubye enduulu abatuuze ne bajja okumutaasa wabula okumutuukako nga yafudde dda ne bakubira poliisi eyatutte omulambo mu ggwanika e Mulago. Wano abatuuze we baatandikidde okwekalakaasa. Poliisi y'e Wandegeya yatuuse n'etandika okubayisaamu kibooko olwo ne babuna emiwabo n'eggyawo emisanvu mu kkubo.

Ssentebe William Kisuule yavumiridde poliisi olw'okukuba abaabadde balaga obutali bumativu bwabwe n'asaba gavumenti okuvaayo mu bwangu ebakolere omwala guno kubanga gugenda kubattira abaana babwe bangi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...