TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebikwekweto ku nvuba embi ku nnyanja bizzeemu wiiki eno - Maj. Gen. Kyanda

Ebikwekweto ku nvuba embi ku nnyanja bizzeemu wiiki eno - Maj. Gen. Kyanda

Added 12th February 2021

EBIKWEKWETO by’amagye agalondoola envuba embi ku nnyanja zonna mu Uganda bizzeemu wiiki eno nga bifuuza abavubi ku nnyanja zino ababadde bazzeemu okuvuba obwenyanja obuto ssaako n’okukozesa obutimba n’amaato ebimenya amateeka.

Maj. Gen. Kyanda ng’ayogera n’abamu ku bajaasi.

Maj. Gen. Kyanda ng’ayogera n’abamu ku bajaasi.

Bya JOSEPH MUTEBI                                                                                                                                         EBIKWEKWETO by'amagye agalondoola envuba embi ku nnyanja zonna mu Uganda bizzeemu wiiki eno nga bifuuza abavubi ku nnyanja zino ababadde bazzeemu okuvuba obwenyanja obuto ssaako n'okukozesa obutimba n'amaato ebimenya amateeka.

"Ffe ng'akakiiko akaalondebwa okugogola abajaasi ba UPDF abalwanyisa envuba embi ku mazzi tetwateekebwawo kuyita mu kiseera kya kalulu, nedda, omulimu guno tukyagukola.

Tukyakola okunoonyereza kwaffe olwo tulyoke tuveeyo n'alipoota ng'eraga nga bwe balina okutambuza omulimu gw'obuvubi ku nnyanja zino olwo enkyukakyuka eyenkomeredde efulumizibwe bakama baffe ku mateeka aganaagobererwa ku nnyanja" bwatyo Maj. Gen. Kyanda bwe yategeezezza.

Okwogera kino kiddiridde abantu kye bazze boogera nti Pulezidenti yayimiriza abajaasi abaali bakulira ebikwekweto bino gye buvuddeko ng'agezaako okunoonya obuganzi mu kalulu akaakaggwa nti era baali basuubira nti akalulu olunaggwa ng'ebikwekweto biddamu era ng'amagye gaddamu okutulugunya abavubi mu ngeri eyeekyeyonoonere.

Bino Maj. Gen. Kyanda yabyogeredde mu lukiiko olwokubiri lwe yasisinkaniddemu abakulira obukiiko obugatta abavubi okwetooloola disitulikiti za Uganda zonna ezirimu ennyanja olwatudde ku kisaawe e Kololo ku Lwokusatu omwabadde abasuubula ebyennyanja okubitwala ebweru, abaleeta ebintu ebyeyambisibwa mu kuvuba ebyennyaja okuli obutimba ne kalonda omulala n'abakugu abalala era baavuddewo nga balina ebintu ebyenjawulo bye bakkiriziganyizzaako ebigenda okugobererwa abavubi n'amagye mu kiseera kino ng'akakiiko bwe kakyakola okunoonyereza kwako okusobola okuyimirizaawo omulimu guno nga buli agukola agwenyumirizaamu.

1:Ng'ebikwekweto biddamu ku nnyanja amagye gaffe ag'oku nnyanja galina okukwatagaana n'abakulira abavubi ku nnyanja, abasuubula ebyennyanja n'okuleeta ebikozesebwa okuvuba beekolemu obukiiko obw'ekiseera okuyambako abajaasi baffe okukola ebikwekweto bino naye nga teri kuddamu kutulugunya muvubi yenna ng'abamu bwe babadde bakola era ababadde bayamba ku magye bonna abakadde tebagenda kuddamu kukola naffe.

2:Nnamba y'amagye g'oku mazzi egenda kwongerwako okusobozesa okukendeeza ku bakadeyideyi abamala ne beefula abajaasi ne batulugunya abantu ku mazzi ekivumaganya eggye lyaffe.

3: Mu ngeri y'emu akakiiko kasazeewo nti abajaasi bonna ababadde baateekebwa ku nnyanja nga baludde mu bifo okusukka omwaka mulamba tekigenda kuddamu kubeerawo kubanga abamu bawasa n'abakyala mu bitundu ebyo ne bafuuka abako ne batandika okubeera nga tebakyasobola kukola mulimu gwabwe.

4: Era akakiiko kagambye nti buli kitundu awali emyalo emingi bagenda kuteekawo kkooti ezivunaana abavubi ababeera bakwatiddwa mu bikwekweto bino bavunaanirwewo era nga n'emmotoka ezibadde zikwatibwa okwetikka obwennyanja obuto si za kuddamu kukwatibwa kubanga nnannyini mmotoka abeera tamanyi oba byatisse byanyanja bito oba bikulu.

5: Buli muvubi agenda kukkirizibwa okwetundira ebyennyanja bye butereevu eri oyo abisuubula okusobola okuggyawo bakayungirizi ababaddewo wakati wa buli muntu asobole okuganyulwamu.

6: Akakiiko era kaasazeewo obutakkiriza muvubi yenna kuddamu kuvuba mu bitundu nabo bye bamaanyi nti awo ebyennyanja we bizaalira okusobola okukuuma obungi bw'ebyennyanja nga bingi mu nnyanja zonna.

7: Obutimba n'ebintu byonna ebireetebwa okuva ebweru w'e ggwanga ebikozesebwa okukwata ebyennyanja, bya kusooka kwetegerezebwa ab'ekitongole kya UNBS ekirondoola omutindo gw'ebintu ebiyingira mu ggwanga nga bali wamu n'aba URA ssaako UPDF okusobozesa okuggyawo enguzi ebaddewo ne batuuka okuyingiza ebintu ebimenya amateeka.

8: Maj Gen Kyanda yagambye nti enkola y'okuwa omuntu omu okubaggya amaato mu kitundu kyali kikyamu kubanga kino kiwa omuntu oyo okuseera abavubi nga bawanika emiwendo gy'amaato era bagenda kuwa abakulira disitulikiti amagezi bakkirize buli muntu alina obusobozi okukola eryato eritukagaana n'omutindo nga bwe kyali nga edda kasita libeera nga lituukana n'omutindo.

Maj. Gen. Kyanda yagambye nti okutandika Mmande ya wiiki ejja akakiiko ke kagenda kutalaaga buli mwalo oguli ku nnyanja nga kakungaanya obujulizi n'okukwata abo abajaasi abeenyigira mu kutulugunya abavubi era bavunaanibwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakooza ng’alaga bwe yabuuse ekikomera.

Poliisi eyogezza eyakwatidd...

POLIISI eyogezza omusajja eyakwatiddwa ku by'okumenya n'okubba amaka we bazaala omugenzi Ssaabasumba Cyprian Kizito...

Nansimbi (owookubiri ku ddyo) ne bba Dr. Jjagwe ku gumu ku mikolo egisembyeyo mu bulamu bwe.

Nnaabagereka akungubagidde ...

OMUDDUGAVU eyasooka okukulira essomero lya Gayaza Junior School okuva mu 1975 okutuuka 1980, Berry Nansimbi Jjagwe...

Kabaka

Dr. Luyombya awabudde ku k...

DR. JACK Mukiibi Luyombya, omu basawo abakugu mu ddwaaliro lya Kampala Hospital era nga mukiise mu Lukiiko lwa...

Ssegirinya nga bamutwala mu kagaali.

Ssegirinya bamututte Nairobi

OMUBAKA wa Kawempe North omulonde, Mohammed Ssegirinya eggulo ku Ssande baamutadde ku ennyonyi eyamututte e Nairobi...

Ekikomera ekyassibwa ku malaalo ga Basudde (mu katono).

▶️ We baaziika Basudde kati...

NGA wayise emyaka 24 ng'avudde mu bulamu bw'ensi, aba famire y'omugenzi Herman Basudde eyali nnakinku mu kuyimba...