TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abazadde bakubiriziddwa okuyigiriza abaana olulimi oluganda

Abazadde bakubiriziddwa okuyigiriza abaana olulimi oluganda

Added 15th February 2021

OMUKUBIRIZA w'olukiiko lw'Abataka  b'Obusolya mu Buganda Omutaka Augustine Mutumba Namwama asabye abantu okufuba okukulakulanya olulimi Oluganda nga balwogera mu butuufu bwalwo. Namwama agambye nti kyakuyamba okutumbula Oluganda nga bwekiri ku nnimi endala okuli Olungereza,Oluchina n'endala  era n'awa amagezi nti ng'abazadde tebanafuba kuyigiriza baana baabwe nnimi zino engwira,basooke bafube okuyigiriza abaana olulimi Oluganda kubanga mwemukumiddwa obuwangwa n'ennono zaabwe. 
Ayogedde ku mbeera y'ekiwamba bantu eri mu ggwanga gyagambye nti ejjukiza abantu ebyaliwo mu myaka gy'enkaaga ne kinaana era n'asaba gavumenti ebeereko kyekola. 
Bino abyogeredde ku kyalo Kyewanise mu ggombolola ye Kasawo e Kyaggwe mu kwaabya olumbe lw'omugenzi John Ssekamatte Kiriggwajjo.
 Ye Ssabalangira wa Buganda,  Musanje Kikulwe Ngobe yebazizza aba Famire okwaabya enyimbe omukolo gwayogeddeko ng'ogulimu emigaso entoko okuli okugatta abantu,okumanyagana n'okusomesa ennono.
John Ssekamatte asikidde Jjajjawe John Ssekamatte Kiriggwajjo nga Lubuga we ye Eron Nantumbwe. 
Enock Ssevvume asikidde Samuel Male nga Angel Nakamatte ye Lubuga we.
Ate Lawrence Busulwa asikidde Jjajjawe Cosma Ssemunga ng'ono y'azaala Kitaawe Omugenzi John Ssekamatte Kiriggwajjo. 
Omwami w'essaza ly'e Kyaggwe, Elijah Boogere akulisizza Bannabyabufuzi okuyita mu kalulu era n'abasaba  okufaayo ku nsonga eziruma abantu.
Omukolo gwetabiddwako Omubaka w'e Buvuma mu Palamenti Migadde Nduggwa, Kagole Kivumbi n'abakulu abalala okuva mu Kika ky'ekkobe n'essaza ly'e Kyaggwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...