TOP

Ab'akatale k'e Wandegeya batabukidde KCCA

Added 16th February 2021

“Tetugenda kuva ku midaala gyaffe olw’ensonga ezeekuusa ku kugondera ekiragiro kya Pulezidenti Museveni eky’obutaddamu kusasula ssente ezimenya amateeka eri obukulembeze bw’akatale kaffe."

ABASUUBUZI b'akatale k'e Wandegeya batabukidde KCCA okubagobaganya mu katale Gavumenti ke yabazimbira okwekulaakulanya.

Ku Lwokuna akawungeezi bano abaakulembeddwa abookya enkoko okuli; Mustapha Mutebi ne Ismail Jjuuko beekalakaasizza  olwa kye baayise KCCA okubagoba ku midaala gyabwe olw'okugaana okugisasula olwa ssente zino okuyimirizibwa Pulezidenti Museveni gye buvuddeko.

[image_library_tag 2ec26ec4-13ae-4484-ba2c-90db96d7edd1 703x467 alt="Omu ku basuubuzi, Ismail Jjuuko ng'alaga ebimu ku biwandiiko ebibakkiriza okukolera mu katale k'e Wandegeya bwe yabadde alaga obutali bumativu olwa kye yayise KCCA okubagobaganya mu kifo kino." width="703" height="467" ]
Omu ku basuubuzi, Ismail Jjuuko ng'alaga ebimu ku biwandiiko ebibakkiriza okukolera mu katale k'e Wandegeya bwe yabadde alaga obutali bumativu olwa kye yayise KCCA okubagobaganya mu kifo kino.

"Tetugenda kuva ku midaala gyaffe olw'ensonga ezeekuusa ku kugondera ekiragiro kya Pulezidenti Museveni eky'obutaddamu kusasula ssente ezimenya amateeka eri obukulembeze bw'akatale kaffe," Mutebi bwe yaweze. Ono yeegattiddwaako ssentebe w'akatale kano, Issa Ssekimpi n'akulira abakyala, Mayi Nabukenya abaasabye Pulezidenti ne ofiisi ya Col. Edith Nakalema okuyingira mu nsonga zino.

Baakukulumidde  n'abakungu okuva mu ofiisi ya KCCA ey'ekikula ky'abantu okuli; Esau Galuhande ne Henry Bukenya  olwa kye baayise okutandika okukuta n'obukulembeze bwa Jonathan Gitta obwagobeddwa olw'emivuyo okuli; egy'okusolooza ku basuubuzi abookya enkonko 13,000/- (buli lunaku) n'okweddiza emidaala gy'abasuubuzi egyenjawulo ekikontana n'amateeka agafuga obutale.

Omwogezi wa KCCA, Daniel Nuwe Abine bwe yatuukiriddwa  yasuubizza okusisinkana enjuyi zonna n'abasaba okuba abakkakkamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasomesa nga baweebwa ebigezo by'amasomero gaabwe.

Enkuba teremesezza bigezo k...

Wadde ng'enkuba yakedde kutonnya mu bitundu by'omu disitulikiti y'e Kalungu teyalemesezza bakulu b'amasomero kunona...

Omuzibizi wa Arsenal eyafun...

Tierney yafunye obuvune mu vviivi era asuubirwa okumala ebbanga eriwerako nga tazannya wabula Arteta agamba nti...

Bassita ba Leicester bameny...

TTIIMU ya Leicester eraze lwaki abazannyi baayo basatu baayo basatu tebaazannye mupiira gwa Premier, West Ham bwe...

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...