TOP

Gula bbomba efuuyira weekozese

Added 20th February 2021

KU 60,000/- ogattako eddagala lya 19,000/- okutuuka ku 49,000/- n’otandika okwekozesa. Kino kiba kitegeeza nti bw’ofuna ssente 100,000/- oba ofunye bizinensi nga ku zino oggyako 60,000/- bbomba ‘origino’ era ng’eba ya liita 20.

Emu ku bbomba efuuyira.

Emu ku bbomba efuuyira.

KU 60,000/- ogattako eddagala lya 19,000/- okutuuka ku 49,000/- n'otandika okwekozesa. Kino kiba kitegeeza nti bw'ofuna ssente 100,000/- oba ofunye bizinensi nga ku zino oggyako 60,000/- bbomba ‘origino' era ng'eba ya liita 20.

Okikola otya? Osobola okunoonya emirimu gy'okufuuyira ebirime by'abantu mu kitundu. Nate bbomba y'emu efuuyira ebiwuka mu maka omuli ebiyenje, ensiri ne mu kaabuyonjo. Okufaanako n'emirimu emirala, nagwo gwetaaga obukugu n'obwesigwa okugufunamu n'okuwangaaza bakasitoma.

Oteekwa okufuna okubangulwa mu nkola y'eddagala erifuuyirwa ku birime eby'enjawulo mu nnimiro ssaako n'entambula yaalyo mu bipiimo ebituufu ssaako n'eryo erifuuyirwa mu maka okutta ebiwuka eby'enjawulo omuli n'ebiku n'enkukunyi. Engeri gy'okolamu ssente Oyinza okuwa kasitoma omukisa okwegulira eddagala ggwe n'okola gwa kufuuwa.

Ssente ezikusasulwa zisinziira ku bunene bwa mulimu oguba gukoleddwa. Nate oyinza okwegulira eddagala eriryo oluvannyuma lw'okutegeeragana ne kasitoma n'okusasuza, byombiriri; obukozi n'eddagala. Eky'okwegulira eddagala kikulu nnyo kubanga oba oly'ekakasa okusinga omuntu okukuwa erirye ne litakola ate n'akwekwasa nti wafuuyira bubi oba walitabula bubi.

(Binnyonnyoddwa Jacob Musiime akola omulimu guno mu ggombolola y'e Malangala mu Mityana).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...