
Omu ku bakolera mu katale k’e Najjembe ng’ayogera ne RDC Kagaayi.
Bya Muka sa Kivumbi
ABAKULIRA ekitongole ky'ebibira ekya NFA bamenye obuyumba bw'abasuubuzi mu katale k'e Najjembe ng'entabwe eva ku kutema miti gy'ekibira ne beesenza ku ttaka lyakyo.
Aba National Forestry Authority baagenze ku katale e Najjembe ne bamenya obumu ku buyumba bw'abasuubuzi ababadde bagenda beesenza ku ttaka ly'ekibira wadde nga bulijjo babadde babalabula. Abasuubuzi baasabye ab'ebibira babalekere ekibangirizi bakoleremu.
Omubaka wa Gavumenti mu disitulikiti y'e Buikwe, Kagaayi yayogedde n'abamenyeddwa obuyumba nga yasoose kubalagira okuyonja ekifo we bakolera kubanga batunda byakulya.
Abasuubizza nga bw'agenda okutuukirira aba NFA ng'ali wamu n'abakulembeze ba Division eno balabe nga babaddiramu kyokka era n'abanenya okutema emiti gy'ekibira ekintu ekimenya amateeka.