TOP

Ab'Enseenene batuuzizza ow'Essiga

Added 23rd February 2021

Kyaddaaki ab’ekika ky’Enseenebe batuuzizza ow’Essiga mu kika kyabwe oluvannyuma lwe bbanga nga tebamulina. Omukolo gw’okutuuza ow’Essiga gwabadde ku kigwa kyabwe e Nsiisi, mu Ggombolola y’e Maanyi, mu Ssaza ly’e Busujju ng’era mu kusooka wabaddewo okutya nti abamu baabadde bajja kuguwakanya.

Owe Ssiga Katimpa Kironde (ku ddyo) ng'ayogera eri ab'Enseenene bwe yabadde yakatuuzibwa e Nsiisi.

Owe Ssiga Katimpa Kironde (ku ddyo) ng'ayogera eri ab'Enseenene bwe yabadde yakatuuzibwa e Nsiisi.

Bya Luke Kagiri

Kyaddaaki ab'ekika ky'Enseenebe batuuzizza ow'Essiga mu kika kyabwe oluvannyuma lwe bbanga nga tebamulina.
Omukolo gw'okutuuza ow'Essiga gwabadde ku kigwa kyabwe e Nsiisi, mu Ggombolola y'e Maanyi, mu Ssaza ly'e Busujju ng'era mu kusooka wabaddewo okutya nti abamu baabadde bajja kuguwakanya.
Charles Sserebe eyakuliddemu okutuuza ow'Essiga, yategeezezza nti Enseenene erina obuvunaanyizibwa bw'amaanyi mu Buganda kyokka ebadde n'okusoomoozebwa mu bukulembeze okumala ebbanga ddene. Omukolo guno gwakoleddwa mu ngeri y'obuwangwa, nga basoose kutuuza ow'Essiga Kironde Katimpa Kajubi, n'oluvannyuma ne bamukwasa ebikozesebwa nga Ddamula.

Baamututte mu bifo eby'enjawulo eby'obuwangwa e Nsiisi, nga bwe bamulambika bwe birina okukwatibwa.
Kironde ng'ayogerako n'ab'Enseenene, yabagumizza nga bw'ali omwetegefu okuweereza obulungi.
Yagambye nti, agenda kusookera ku kubagatta, olwo ekika kitambule bulungi.

"Okumala ebbanga tubadde nokusoomozebwa naye twebasa Ssabsajja Kabaka kubanga yasalawo ku nsonga zino era kati Ensene egenda kwongera okubeera obulungi," bwatyo bweyagambye. Yagaseeko nti, "Tuyina okubeera awamu era sigenda kusosola mu bantu bonna,".

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Kabanda.

Ekkubo ly'omusaalaba libeer...

NG’OGGYEEKO Olwokutaano Olutukuvu olutambuzibwako ekkubo ly’omusaalaba, mu kisiibo tulagirwa okutambuza ekkubo...

Maj. Katamba.

Abaazirwanako 200 bagenze S...

EKIBINJA ky’amagye ekisooka e Kakiri kisunsudde abaazi rwanako 200 nga baakutwalibwa e Somalia okwongera okukuuma...

Abamu ku batuuze abaabadde mu kkooti.

Kkooti etandise okuwulira o...

OMULAMUZI Yasin Nyanzi atandise ku nteekateeka y’okuwulira omusango gw’abatuuze b’e Nakawa abaasengulwa ku luguudo...

Bamasheikh bongedde bwiino ...

BAMASEEKA bongedde okuleeta bwiino akakasa ekiraamo Sheikh Nuhu Muzaata kye yakola ne basomooza abakiwakanya okuleeta...

Mulangira ng’aliko by’annyonnyola abayizi.

'Temusuulirira baliko bulemu'

ABAZADDE abalina abaana abaliko obulemu abagenda okutuula ebibuuzo bya P7, S4 ne S6 basabiddwa obutabasuulirira...