TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Awawaabidde kkampuni eyamuwola pikipiki ne bamenya endagaano

Awawaabidde kkampuni eyamuwola pikipiki ne bamenya endagaano

Added 23rd February 2021

OMUSAJJA ayeewola Pikipiki agivuge boodabooda atabuse n’abaagimuwola n’abaloopa ku poliisi ng’abalanga okumenya endagaano gye baakola.

Kiwanuka eyaloopye ku poliisi.

Kiwanuka eyaloopye ku poliisi.

Bya Moses Lemisa

OMUSAJJA ayeewola Pikipiki agivuge boodabooda atabuse n'abaagimuwola n'abaloopa ku poliisi ng'abalanga okumenya endagaano gye baakola.

Isa Kiwanuka 47, ow'e Bukoto mu ggombolola y'e Kikamulo mu disitulikiti y'e Nakaseke yaddukidde ku poliisi y'e Luweero  n'aloopa abakulira kkampuni ya boodabooda Banja ng'abavunaana okumuggyako pikipiki ye ng'ebbanga terinnaba kuggwaako.  

Kiwanuka yategeezezza nti nga December 18, 2020, aba boodabooda Banja baamuwa pikipiki n'abasasulako 1500,000/- ne bamulagira okusasula 92,000/- buli wiiki okumala omwaka gumu n'ekitundu ng'era abadde agivugira Luweero n'okugoberera amateeka gonna agamuweebwa.  

Ssente yasooka kuzisasula mu Centenary Bank kyokka oluvannyuma ne bamulagira aziteeke mu Stanbic kye yakola kyokka yeewuunya okulaba nga pikipiki bagimuggyako mu January n'okumulagira asasule 6,532,000/- balyoke bamuddize pikipiki ekintu kyawakanya.

Joseph Mulungu  omu ku bakulira kkampuni eno yategeezezza nti ensonga zino azimanyiiko era afuba okulaba nga bateesaganya ne Kiwanuka. Omusango guli ku poliisi y'e Luweero ku fayiro nnamba SD REF:51/11/1/2021.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mabiriizi ng’agasimbaganye ne Ssaabalamuzi Dollo (ku ddyo).

▶️ Ssaabalamuzi Dollo ale...

SSAABALAMUZI Alfonse Owinyi Dollo agaanidde mu musango gwa Kyagulanyi Ssentamu n'agamba nti, yadde yawolerezaako...

Kyagulanyi ng’ayogera ku kuggyayo omusango.

Bobi okuggyayo omusango kik...

JUSTINE Kasule Lumumba, ssaabawandiisi wa NRM alangidde omubaka Robert Kyagulanyi obwannakigwanyizi olw'okuggyayo...

Abamu ku bannannyini masomero abeetabye mu lukiiko.

▶️ Ebisaliddwaawo mu lukii...

ABAKULIRA amasomero g'obwabannannyini bapondoose ne bakkiriziganya ne gavumenti okugaggulawo nga March 01, 2021...

Sipiiika (wakati) n’ab’amasomero.

▶️ Ab'amasomero ga nassale...

EKIBIINA ekigatta ebitongole ebikola ku nkuza y'abaana bagenze mu Palamenti ne beemulugunya olwa gaumenti okugaana...

Abatuuze ne poliisi ga bali we battidde Amolo.

▶️ Asse mukazi we n'amutem...

ASIKAALI ku kitebe kya UMEME e Mpigi asozze mukazi we ebiso mu bulago n'amutta oluvannyuma n'amutemako emikono...