TOP
  • Home
  • Amawulire
  • 6 basimattuse okufiira mu ttakisi ebuseeko omupiira ne yeevulungula

6 basimattuse okufiira mu ttakisi ebuseeko omupiira ne yeevulungula

Added 23rd February 2021

ABASAABAZE abasoba mu mukaaga basimattuse okufiira mu kabenje ttakisi mwe babadde bw'ebuseeko omupiira ne yeevulungula emirundu egiwera.

Abantu nga batunuulira ttakisi eyagudde.

Abantu nga batunuulira ttakisi eyagudde.

Bya John Bosco Sseruwu

ABASAABAZE abasoba mu mukaaga basimattuse okufiira mu kabenje ttakisi mwe babadde bw'ebuseeko omupiira ne yeevulungula emirundu egiwera.

Ddereeva Yasin Kimbugwe (wakati) ne kondakita we nga bali n'owa ttulafiki.

Bino bibadde Lukaya e Kalungu ku luguudo lwa Kampala-Masaka nga ttakisi eno nnamba UBD 153X ebadde eva mu bitundu by'e Ssembabule okwolekera Kampala okusinziira ku ddereeva waayo Yasin Kimbugwe.

Kasiringi ng'esikayo ttakisi.

Ono annyonnyodde nti akomye okutegeera ng'alaba omupiira gw'omu maaso gubuuseeko ku mmotoka eno nga gumukulembedde gwevuga. Agenze okuddamu okutegeera ng'abadduukirize babasikamu ng'emaze okugwa wabula bonna tewali afunye kisago ky'amaanyi.

Poliisi y'ebidduka e Lukaya emmotoka eno egisise ate abasaabaze ne bafuna endala ne beeyongerayo n'olugendo.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mabiriizi ng’agasimbaganye ne Ssaabalamuzi Dollo (ku ddyo).

▶️ Ssaabalamuzi Dollo ale...

SSAABALAMUZI Alfonse Owinyi Dollo agaanidde mu musango gwa Kyagulanyi Ssentamu n'agamba nti, yadde yawolerezaako...

Kyagulanyi ng’ayogera ku kuggyayo omusango.

Bobi okuggyayo omusango kik...

JUSTINE Kasule Lumumba, ssaabawandiisi wa NRM alangidde omubaka Robert Kyagulanyi obwannakigwanyizi olw'okuggyayo...

Abamu ku bannannyini masomero abeetabye mu lukiiko.

▶️ Ebisaliddwaawo mu lukii...

ABAKULIRA amasomero g'obwabannannyini bapondoose ne bakkiriziganya ne gavumenti okugaggulawo nga March 01, 2021...

Sipiiika (wakati) n’ab’amasomero.

▶️ Ab'amasomero ga nassale...

EKIBIINA ekigatta ebitongole ebikola ku nkuza y'abaana bagenze mu Palamenti ne beemulugunya olwa gaumenti okugaana...

Abatuuze ne poliisi ga bali we battidde Amolo.

▶️ Asse mukazi we n'amutem...

ASIKAALI ku kitebe kya UMEME e Mpigi asozze mukazi we ebiso mu bulago n'amutta oluvannyuma n'amutemako emikono...