TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ab'amasomero ga nassale ensonga bazitutte wa Sipiika

Ab'amasomero ga nassale ensonga bazitutte wa Sipiika

Added 23rd February 2021

EKIBIINA ekigatta ebitongole ebikola ku nsonga z’abaana ekya Early Childhood Development Association kiraze obutali bumativu olwa Gavumenti okulwawo okuggulawo amasomero ga Nassale kye bagamba nti kikosezza nnyo abakyala naddala mu byenfuna.

Sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga (wakati) ng'ali n'ab'ekibiina ekigatta ebitongole ebikola ku nsonga z'abaana.

Sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga (wakati) ng'ali n'ab'ekibiina ekigatta ebitongole ebikola ku nsonga z'abaana.

Bya LAWRENCE KIZITO                                                                                    

EKIBIINA ekigatta ebitongole ebikola ku nsonga z'abaana ekya Early Childhood Development Association kiraze obutali bumativu olwa Gavumenti okulwawo okuggulawo amasomero ga Nassale kye bagamba nti kikosezza nnyo abakyala naddala mu byenfuna.

Bino bibadde mu kiwandiiko kyabwe kye bakwasizza Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga gwe basisinkanye mu ofiisi ye ku Lwokubiri ne basaba Gavumenti ekkirize okusisinkana abantu bonna abakola ku nsonga z'abaana esobole okuwulira eddoboozi lyabwe, ekole okusalawo okutuufu.

Ssentebe w'ekibiina kino, Manuella Mulondo ategeezezza Sipiika nti abakazi be basinga okukola mu masomero ga Nassale nga n'olwekyo tebakyalina mirimu. Ate n'abakazi abalala abeekolera nabo kati emirimu baagisuddewo ne badda mu kulabirira abaana baabwe kubanga amasomero agalabirira abaana mwe baabalekanga maggale.

Alaze obweraliikirivu nti ssinga embeera egenda bweti, sbakazi bandidda emabega gye baali emyaka 40 egiyise. Ye Estella Kabagaya eyali alabirira abaana b'abakazi abakola mu katale k'e Wandegeya agambye Sipiika nti abakazi b'omu butale tebakyasobola kukola kubanga abaana babataataaganya era baasazeewo kusigala waka nga balabirira abaana.

Awadde eky'okulabirako nti Abakazi abafumba emmere e Wandegeya abamu okukola baakuleka kubanga tebasobola kubeera na baana mu muliro we bafumbira, ekintu kye yagambye nti kyakuleeta obwavu mu maka ekinavaako okulinnya kw'obutabanguko mu maka.

Sipiika Kadaga asiimye abakyala bano olw'okumuggula amaaso n'agamba nti yasaba dda gavumenti okutunula mu bizinensi ezitannaba kuggulwawo, wabula ng'eyamasomero ga Nassale teyagikoonako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mabiriizi ng’agasimbaganye ne Ssaabalamuzi Dollo (ku ddyo).

▶️ Ssaabalamuzi Dollo ale...

SSAABALAMUZI Alfonse Owinyi Dollo agaanidde mu musango gwa Kyagulanyi Ssentamu n'agamba nti, yadde yawolerezaako...

Kyagulanyi ng’ayogera ku kuggyayo omusango.

Bobi okuggyayo omusango kik...

JUSTINE Kasule Lumumba, ssaabawandiisi wa NRM alangidde omubaka Robert Kyagulanyi obwannakigwanyizi olw'okuggyayo...

Abamu ku bannannyini masomero abeetabye mu lukiiko.

▶️ Ebisaliddwaawo mu lukii...

ABAKULIRA amasomero g'obwabannannyini bapondoose ne bakkiriziganya ne gavumenti okugaggulawo nga March 01, 2021...

Sipiiika (wakati) n’ab’amasomero.

▶️ Ab'amasomero ga nassale...

EKIBIINA ekigatta ebitongole ebikola ku nkuza y'abaana bagenze mu Palamenti ne beemulugunya olwa gaumenti okugaana...

Abatuuze ne poliisi ga bali we battidde Amolo.

▶️ Asse mukazi we n'amutem...

ASIKAALI ku kitebe kya UMEME e Mpigi asozze mukazi we ebiso mu bulago n'amutta oluvannyuma n'amutemako emikono...