TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Balaajanidde Gavt ku nkaayana z'ensalo wakati wa Nakawa ne Kira

Balaajanidde Gavt ku nkaayana z'ensalo wakati wa Nakawa ne Kira

Added 23rd February 2021

'Ensonga ey'ensalo beetaaga okugikolako mu bwangu okusobola okugonjoola obuzibu bw’entalo zino kubanga kino kizibu kya maanyi mu Banda nga bakaayanira ensalo wakati waabwe ne munisipaali y’e Kira.'

Ronald Balimwezo Mmeeya w'e Nakawa ng'ayogera eri bakkansala b'e Nakawa mu lukiiko lwa kanso. Ku kkono ye Sipiika Moses Mubiru ate ku ddyo ye Town Clerk, Denis Omodi.

Ronald Balimwezo Mmeeya w'e Nakawa ng'ayogera eri bakkansala b'e Nakawa mu lukiiko lwa kanso. Ku kkono ye Sipiika Moses Mubiru ate ku ddyo ye Town Clerk, Denis Omodi.

BYA EDWARD LUYIMBAAZI NE JAMES MAGALA

ABAKULEMBEZE mu Munisipaali y'e Nakawa balaajanidde Gavumenti okwerula ensalosalo za munisipaali y'e Nakawa yonna gy'eyitira kiyambeko okugonjoola okusika omuguwa okuliwo n'ebitundu eby'enjawulo bye basalagana nabo.

Okusaba kuno baakukoledde mu lutuula lwa Kkanso olw'enjawulo olwayitiddwa Sipiika wa munisipaali y'e Nakawa, Moses Mubiru okulaba nga batema empenda ku ngeri ey'okugonjoola obutakkaanya obuliwo mu kiseera kino olw'ensalosalo ezikaayanirwa wakati wa munisipaali y'e Nakawa n'ebitundu ebimu ebya Wakiso.

Deborah Katabalwa kkansala omukyala ow'omuluka gwe Banda yagambye nti ensonga eno beetaaga okugikolako mu bwangu okusobola okugonjoola obuzibu bw'entalo zino kubanga kino kizibu kya maanyi mu Banda nga bakaayanira ensalo wakati waabwe ne munisipaali y'e Kira.

[image_library_tag 0b4fe3a7-4ca3-43b7-bcff-31797b5ede96 703x491 alt="Ronald Balimwezo Mmeeya w'e Nakawa ng'ayogera eri bakkansala b'e Nakawa mu lukiiko lwa kanso. Ku kkono ye Sipiika Moses Mubiru ate ku ddyo ye Town Clerk, Denis Omodi." width="703" height="491" ]
Ronald Balimwezo Mmeeya w'e Nakawa ng'ayogera eri bakkansala b'e Nakawa mu lukiiko lwa kanso. Ku kkono ye Sipiika Moses Mubiru ate ku ddyo ye Town Clerk, Denis Omodi.

Ate Simon Barigo kkansala owa Naggulu I yagambye nti kituufu zooni ezimu mu Nakawa nnene nnyo nga zeetaaga kusalibwamu kyokka tebalina kupapa balina kusooka kuteesa bateekeewo amakubo mwe balina okuyita okusalamu zooni ezo.

Town Clerk wa Nakawa, Denis Omodi yawabudde bakkansala bano n'agamba nti ensonga teri Nakawa yokka wabula n'ebitundu ebirala bwe batyo beetaaga okwebuuza ku bakungu abalala omuli ne baminisita ow'ebyettaka era ensonga eno baagyanjulayo dda era bakugu bajja kugikolako.

Balimwezo yategeezezza nti wabaddewo okusika omuguwa okw'amaanyi ku nsalosalo za Nakawa ne Wakiso ky'agamba nti nga Nakawa kibafiirizza omusolo muyitirivu n'asaba Gavumenti okufuba okulaba ng'ensalo za Nakawa zerurwa mu bwangu.

Mu ngeri y'emu Balimwezo yategeezezza nga munisipaali y'e Nakawa bwe batandise kaweefube ow'okuzimba ekitebe kya munisipaali eno eky'omulembe olw'omuwendo gwa bakkansala ogwalinnye okuva ku ba kkansala 45 kumpi kuyisa mu bakansala 80 mu kkanso empya n'ategeeza nti kino bakikoze ng'akabonero ak'ekijjukizo eri abantu b'e Nakawa ku bukulembeze bwabwe obw'emyaka etaano gye bamaze ku munisipaali eno.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mabiriizi ng’agasimbaganye ne Ssaabalamuzi Dollo (ku ddyo).

▶️ Ssaabalamuzi Dollo ale...

SSAABALAMUZI Alfonse Owinyi Dollo agaanidde mu musango gwa Kyagulanyi Ssentamu n'agamba nti, yadde yawolerezaako...

Kyagulanyi ng’ayogera ku kuggyayo omusango.

Bobi okuggyayo omusango kik...

JUSTINE Kasule Lumumba, ssaabawandiisi wa NRM alangidde omubaka Robert Kyagulanyi obwannakigwanyizi olw'okuggyayo...

Abamu ku bannannyini masomero abeetabye mu lukiiko.

▶️ Ebisaliddwaawo mu lukii...

ABAKULIRA amasomero g'obwabannannyini bapondoose ne bakkiriziganya ne gavumenti okugaggulawo nga March 01, 2021...

Sipiiika (wakati) n’ab’amasomero.

▶️ Ab'amasomero ga nassale...

EKIBIINA ekigatta ebitongole ebikola ku nkuza y'abaana bagenze mu Palamenti ne beemulugunya olwa gaumenti okugaana...

Abatuuze ne poliisi ga bali we battidde Amolo.

▶️ Asse mukazi we n'amutem...

ASIKAALI ku kitebe kya UMEME e Mpigi asozze mukazi we ebiso mu bulago n'amutta oluvannyuma n'amutemako emikono...