
Abamu ku bantu abaliko obulemu ne bulangiti ze baafunye.
Bya JAMES MAGALA
ABAKULEMBEZE b'abantu abaliko obulemu mu Disitulikiti y'e Wakiso beekokkodde abamu ku bannaabwe abezza ebintu by'abaliko obulemu ebiba bibaweereddwa okwekulaakulanya.
Bano nga bakulembeddwaamu omubejja Deborah Mazzi, kkansala omukyala akiikirira abaliko obulemu ku Disitulikiti y'e Wakiso, baasinzidde ku mukolo gwa Night to Shine ogwategekeddwa ku kkanisa ya Caring Heart Ministries e Kakiri n'ekigendererwa eky'okuzza essuubi mu bantu abaliko obulemu ne balaga obwennyamivu olw'ebintu ebiweebwa abaliko obulemu kyokka ne bitabatuukako.
Omumbejja Mazzi, yategeezezza nga Wakiso balina ekizibu ky'abantu abeerimbika mu baliko obulemu ng'ebintu byonna bwe bijja be babyezza olwo abantu abaliko obulemu ne baviirako awo.

Kyokka Mazzi yagamba nti yadde ye nga omuntu talaba kyokka azze awulira abamu ku bantu abakwatibwa olw'okwerimbika mu bantu abaliko obulemu nti kyokka tebavunaaniddwa kimala n'asaba wabeewo ekikolebwa mu bwangu okutaasa embeera.
Omukolo guno gwetabiddwako abantu abaliko obulemu abasoba mu 200 era nga wano Pasita Paul Musisi akulira Ekkanisa ya Caring Heart Ministries e Kakiri yabadduukiridde n'ebintu eby'enjawulo ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo omwabadde ne bulangiti era n'avumirira omuze gw'okusosola abantu abaliko obulemu.
Pasita Musisi, era yalaze obwennyamivu olw'abamu ku bazadde abakweka abaana olw'okubeera n'obulemu ne batabawa mukisa kusoma n'okulabirirwa ng'abaana abalala n'ategeeza nti nabo bantu abeetaaga okufiibwako ng'abalala. Mazzi yasiimye Pasita Paul Musisi olw'okudduukirira abaliko obulemu mu Wakiso n'asaba n'abazira kisa abalala okwongera okubadduukirira n'ebintu omuli obugaali n'ebyetaago ebirala.