TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Amyuka RDC w'e Kasangati agumizza abatuuze ku kibbattaka

Amyuka RDC w'e Kasangati agumizza abatuuze ku kibbattaka

Added 23rd February 2021

Abakristu nga basaba RDC Jjemba ennamba y'essimu ye oluvannyuma lwa Mmisa e Nangabo.

Abakristu nga basaba RDC Jjemba ennamba y'essimu ye oluvannyuma lwa Mmisa e Nangabo.

Bya Moses Nyanzi 

OMUMYUKA wa RDC w'e Kasangati, Nansana ne Makindye Ssaabagabo, Moses Jjemba  agumizza abatuuze ku kibbattaka ekikyaase mu bitundu ebyenjawulo gy'atwaala nga bwagenda okukirwanyisa okulemesa abagagga abaaliisa abanaku akakanja nga babasindiikiriza ku bibanja byabwe nga tebaweereddwa bwenkanya olw'okukozesa ssente.

"Nze nasindikiddwa gyemuli kubakolera era ofiisi nzigule ababadde beekomya ettaka ly'abanaku nga mwesiga ssente bubakeeredde. Njagala n'abanaku bafune obwenkanya nze kye kyandeese, njagala tukolere wamu kuba sazze kusosola mu nzikiriza za ddiini, ez'ebyobufuzi yadde eggwanga kuno kwossa abanaku abamaliddwako abagagga eddembe".

Bino Jjemba yabituuseeko oluvannyuma lw'ekitambiro kya Mmisa ekyayimbiddwa Rev Fr. Richard Seremba, eri Abakristu b'ekisomesa ky'Omutukuvu Lukka Baanabakintu e Nangabo mu Parish ya Kitagobwa, mu kulambula kwe yatandise abantu okumumanya naye okubamanya ssaako okumanya ekitundu ky'atwala.

Abakristu nga basaba RDC Jjemba ennamba y'essimu ye oluvannyuma lwa Mmisa e Nangabo.
Abakristu nga basaba RDC Jjemba ennamba y'essimu ye oluvannyuma lwa Mmisa e Nangabo.

Yagambye nti ekisingira ddala okuba ekizibu mu kitundu kino kye kibbattaka ng'abagagga banyigiriza abaavu okubagobaganya ku ttaka lyabwe nga tebawereddwa bwenkanya kye yavumiridde era ne yeewerera abagagga bano  okumwerinda.

Ng'abuulira, Fr. Seremba yakkaatirizza obukulu bw'abazadde okukuliza abaana mu ddiini nti kino kyakuyamba eggwanga ery'omu maaso okubeera n'abakulembeze abalimu ensa.Yasabye abantu okukuuma emirembe n'okwagala ensi yabwe, era ng'okulambula kuno yagambye nti agenda kukutwala mu maaso ng'asisinkana abakkirizza mu nzikiriza ezenjawulo n'abakulembeze b'ebitundu ebyenjawulo.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mabiriizi ng’agasimbaganye ne Ssaabalamuzi Dollo (ku ddyo).

▶️ Ssaabalamuzi Dollo ale...

SSAABALAMUZI Alfonse Owinyi Dollo agaanidde mu musango gwa Kyagulanyi Ssentamu n'agamba nti, yadde yawolerezaako...

Kyagulanyi ng’ayogera ku kuggyayo omusango.

Bobi okuggyayo omusango kik...

JUSTINE Kasule Lumumba, ssaabawandiisi wa NRM alangidde omubaka Robert Kyagulanyi obwannakigwanyizi olw'okuggyayo...

Abamu ku bannannyini masomero abeetabye mu lukiiko.

▶️ Ebisaliddwaawo mu lukii...

ABAKULIRA amasomero g'obwabannannyini bapondoose ne bakkiriziganya ne gavumenti okugaggulawo nga March 01, 2021...

Sipiiika (wakati) n’ab’amasomero.

▶️ Ab'amasomero ga nassale...

EKIBIINA ekigatta ebitongole ebikola ku nkuza y'abaana bagenze mu Palamenti ne beemulugunya olwa gaumenti okugaana...

Abatuuze ne poliisi ga bali we battidde Amolo.

▶️ Asse mukazi we n'amutem...

ASIKAALI ku kitebe kya UMEME e Mpigi asozze mukazi we ebiso mu bulago n'amutta oluvannyuma n'amutemako emikono...