TOP

Abakulira amasomero g'obwannannyini bapondoose

Added 23rd February 2021

ABAKULIRA amassomero g’obwannannyini bapondoose ne bakkiriziganya ne Gavumenti okuggulawo amasomero gaabwe n’okutandika nga March 1, 2021.

Abamu ku bakulira amasomero g'obwannannyini nga bava mu lukiiko.

Abamu ku bakulira amasomero g'obwannannyini nga bava mu lukiiko.

Bya Joseph Mutebi

ABAKULIRA  amassomero g'obwannannyini bapondoose ne bakkiriziganya ne Gavumenti okuggulawo amasomero gaabwe n'okutandika nga March 1, 2021.

Abamu ku bakulira ekibiina kya bannannyini masomero gw'obwannannyini nga bava okusisinkana Muyingo.

            Bannannyini massomero gano abeegattira mu kibiina kya ‘‘Proprietors Of Private Education Institutions Association Uganda" ababadde bakulembeddwamu ssentebe waabwe Mike Kironde baasisinkanye Minisita Muyingo ne bakkiriziganya okuggulawo amasomero nga gavumenti bwekola ku nsonga zaabwe.

        Ku nsonga za ssente obuwumbi 2,500, Museveni ze yabasuubiza, Kironde yagambye nti Minisita Muyingo yagambye nti nga bwe baggulawo amasomero gano, ensonga yaabwe agenda kugituusa ewa Museveni mu bwangu okulaba ng'ekolebwako.

            Kironde bino yabyogedde yaakava mu lukiiko mwe baasisinkanidde Minisita Muyingo mwe baagaanye abamawulire wabula Kironde yasabye banne bonna gye baali nti baggulirewo abayizi ba P.6, S.3 ne  S5. 

           Ku ssente ze babanjibwa bbanka ze baali beewola, basabye minisita okwogera ne Pulezidenti ayogereko ne bannannyini bbanka zino okubasonyiwa amagoba kubanga nabo babadde tebakyakola.

            Mu ngeri y'emu Kironde yawadde bannannyini massomero amagezi okugenda okusisinkana bannannyini bbanka gye beewola ssente baddemu okukkaanya ku ngeri gye balina okusasulamu.                        

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mabiriizi ng’agasimbaganye ne Ssaabalamuzi Dollo (ku ddyo).

▶️ Ssaabalamuzi Dollo ale...

SSAABALAMUZI Alfonse Owinyi Dollo agaanidde mu musango gwa Kyagulanyi Ssentamu n'agamba nti, yadde yawolerezaako...

Kyagulanyi ng’ayogera ku kuggyayo omusango.

Bobi okuggyayo omusango kik...

JUSTINE Kasule Lumumba, ssaabawandiisi wa NRM alangidde omubaka Robert Kyagulanyi obwannakigwanyizi olw'okuggyayo...

Abamu ku bannannyini masomero abeetabye mu lukiiko.

▶️ Ebisaliddwaawo mu lukii...

ABAKULIRA amasomero g'obwabannannyini bapondoose ne bakkiriziganya ne gavumenti okugaggulawo nga March 01, 2021...

Sipiiika (wakati) n’ab’amasomero.

▶️ Ab'amasomero ga nassale...

EKIBIINA ekigatta ebitongole ebikola ku nkuza y'abaana bagenze mu Palamenti ne beemulugunya olwa gaumenti okugaana...

Abatuuze ne poliisi ga bali we battidde Amolo.

▶️ Asse mukazi we n'amutem...

ASIKAALI ku kitebe kya UMEME e Mpigi asozze mukazi we ebiso mu bulago n'amutta oluvannyuma n'amutemako emikono...