TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Minisitule y'Ebyenjigiriza egaanyi ab'amasomero okukaka abayizi okuyingira mu bisulo

Minisitule y'Ebyenjigiriza egaanyi ab'amasomero okukaka abayizi okuyingira mu bisulo

Added 25th February 2021

MINISITULE y’ebyenjigiriza ezzeemu okwekenneenya n’efulumya ebiragiro ebipya ng’abayizi ba P6, S3 ne S5 nga baddayo ku ssomero. Eyimirizza enkola amasomero gye gabadde gatandise okuteekawo nti abayizi bonna balina kubeera mu kisulo.

Minisita Muyingo n'abamu ku bakulira amasomero. Baali bava mu lukung'aana olumu gye buvuddeko.

Minisita Muyingo n'abamu ku bakulira amasomero. Baali bava mu lukung'aana olumu gye buvuddeko.

Bya Benjamin Ssebaggala

MINISITULE y'ebyenjigiriza ezzeemu okwekenneenya n'efulumya ebiragiro ebipya ng'abayizi ba P6, S3 ne S5 nga baddayo ku ssomero. Eyimirizza enkola amasomero gye gabadde gatandise okuteekawo nti abayizi bonna balina kubeera mu kisulo.

Patrick Muyinda.

Omwogezi wa minisitule y'ebyenjigiriza Patrick Muyinda eggulo yategeezezza Bukedde nti abakulu mu minisitule baasiibye mu lukiiko nga battaanya enteekateeka ez'enjawulo n'agumya abazadde n'abayizi nti ebiragiro ebimu bagenda kuddamu babyetegereze ababadde batidde nti abayizi bonna balina kugenda mu kisulo tebalina kweraliikirira.

Minisitule weeviiriddeyo okukola ennongoosereza mu biragiro bino, ng'amasomero agamu gatandise okukaka abazadde okuteeka abayizi bonna mu kisulo.

Minisita omubeezi ow'ebyenjigiriza ebyawaggulu, JC Muyingo yategeezezza Bukedde nti minisitule kye yakkirizza kwe kubeera nti essomero bwe libeera lyewandiisa nga lya kisulo ne likkiriza n'abayizi abava ebweru okusomeramu, eryo lisobola okukyusa bonna ne badda mu kisulo.

Kyokka essomero bwe libeera nga lyewandiisa ng'abayizi balina kusoma nga bava waka, eryo terikkirizibwa kukyusa kulagira bayizi bonna kudda mu kisulo.

Wabula Muyingo wagambye nti minisita w'ebyenjigiriza Janet Museveni agenda kufulumya ekiwandiiko ekinnyonnyola embeera yonna enaagobererwa ng'abayizi baddamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr.Tamale

Fr. Tamale waakuziikibwa Bu...

Fr.  Joseph Tamale 39 afudde oluvannyuma lw'okutawaanyizibwa ekirwadde kya Puleesa n'ensigo. W'afiiridde, abadde...

Omutaka Gabunga, Mubiru  (wakati) ne Benon  Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

Bannaddiini musse ekitiibwa...

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono. ...

Betty Maina (ku kkono) , minisita Oryem ne Amelia Kyambadde oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano.

Gavt. ya Uganda ne Kenya zi...

GAVUMENTI ya Uganda ne Kenya zitadde omukono ku ndagaano egendereddwaamu okumalawo emiziziko egibaddewo wakati...

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...