TOP

RDC agumizza ab'e Kasangati ku kibbattaka

Added 25th February 2021

OMUMYUKA wa RDC atwala Kasangati, Nansana ne Makindye Ssaabagabo, Moses Jjemba agumizza abatuuze ku kibbattaka ekikyase mu bitundu ebyenjawulo gy’atwala, bw’ategeezezza nga bw’agenda okukirwanyisa okulemesa abagagga abaaliisa abanaku akakanja nga babasindiikiriza ku bibanja byabwe nga tebafunye bwenkanya olw’okukozesa ssente.

Abakristu nga basaba RDC Jjemba (owookubiri ku kkono) ennamba y’essimu ye oluvannyuma lwa Mmisa e Nangabo.

Abakristu nga basaba RDC Jjemba (owookubiri ku kkono) ennamba y’essimu ye oluvannyuma lwa Mmisa e Nangabo.

OMUMYUKA wa RDC atwala Kasangati, Nansana ne Makindye Ssaabagabo, Moses Jjemba agumizza abatuuze ku kibbattaka ekikyase mu bitundu ebyenjawulo gy'atwala, bw'ategeezezza nga bw'agenda okukirwanyisa okulemesa abagagga abaaliisa abanaku akakanja nga babasindiikiriza ku bibanja byabwe nga tebafunye bwenkanya olw'okukozesa ssente.

"Nze nasindikiddwa gye muli kubakolera, ofiisi nzigule ababadde beekomya ettaka ly'abanaku nga mwesiga ssente bubakeeredde. Moses Nyanzi james magala TONNY NSOONA Njagala n'abanaku bafune obwenkanya era njagala tukolere wamu kuba sazze kusosola mu ddiini, ebyobufuzi yadde eggwanga," bwe yategeezezza.

Bino yabyogedde oluvannyuma lwa Mmisa eyasomeddwa Rev Fr. Richard Seremba, mu kisomesa ky'Omutukuvu Lukka Baanabakintu e Nangabo mu Parish ya Kitagobwa, mu kulambula kwe yatandise okumanyagana n'abantu.

Mu kubuulira, Fr. Seremba yakkaatirizza obukulu bw'abazadde okukuliza abaana mu ddiini nti kino kyakuyamba eggwanga ery'omu maaso okubeera n'abakulembeze abalimu ensa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasomesa nga baweebwa ebigezo by'amasomero gaabwe.

Enkuba teremesezza bigezo k...

Wadde ng'enkuba yakedde kutonnya mu bitundu by'omu disitulikiti y'e Kalungu teyalemesezza bakulu b'amasomero kunona...

Omuzibizi wa Arsenal eyafun...

Tierney yafunye obuvune mu vviivi era asuubirwa okumala ebbanga eriwerako nga tazannya wabula Arteta agamba nti...

Bassita ba Leicester bameny...

TTIIMU ya Leicester eraze lwaki abazannyi baayo basatu baayo basatu tebaazannye mupiira gwa Premier, West Ham bwe...

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...