TOP

Amagye galwanaganye n'ababbi ne gatta omu

Added 26th February 2021

Mu kikwekweto ekyakoleddwa amagye ne poliisi, baazingizza ekibira ky'e Kapcheli abazigu bano mwe babadde beekweka nga baakifuula kyakutendekeramu abavubuka ababbi ababeegattako

Amagye nga gazinzeeko enfo omubadde mutenderwa ababbi mu kibira kye Kapcheli.

Amagye nga gazinzeeko enfo omubadde mutenderwa ababbi mu kibira kye Kapcheli.

Bya FAISAL KIZZA

Omuntu omu yattiddwa mu kanyoolagano wakati w'amagye ga UPDF n'akabondo k'ababbi ababadde bateega abantu ne babanyaga.

Bino bibadde Kapcheli mu West Division mu munisipaali y'e Kapchorwa. Omwogezi w'amagye mu bitundu bya Elgon, Lt. Jude Wandera yategeezezza nti waabaddewo akabinja k'ababbi era abadde akakulira, Francis Musau Kapchekweku 45, yadduka mu magye gye buvuddeko n'emmundu gyabadde yeeyambisa mu bubbi omuli okukola loodibbulooka ez'ekikwangala ne banyaga abantu, okuyingirira amaduuka n'okutemula abantu ssaako okulumba aba mobile money.

Amagye nga gazinzeeko enfo omubadde mutenderwa ababbi mu kibira kye Kapcheli.
Amagye nga gazinzeeko enfo omubadde mutenderwa ababbi mu kibira kye Kapcheli.

Mu kikwekweto ekyakoleddwa amagye ne poliisi, baazingizza ekibira ky'e Kapcheli abazigu bano mwe babadde beekweka nga baakifuula kyakutendekeramu abavubuka ababbi ababeegattako. Kyokka Kapchekweku yakubye amasasi mu baserikale olwo nabo ne bamuddiza mu kwetaasa, era mu kanyoolagano omu ku babbi n'attibwa nga mutabani wa Kapchekweku ate abalala basatu ne bafuna ebisago era bano baakwatiddwa era baatwaliddwa mu ddwaaliro e Kapchorwa ku mpingu.

Kapchekweku waakutwaalibwa mu kkooti y'amagye avunaanibwe emisango okuli okutoloka mu magye, okubbisa emmundu n'okutendeka abamenyi b'amateeka. Emmundu ya Kapchekweku amagye gaagizudde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NEZIKOOKOLIMA

▶️ Abaana abakoze ebibuuzo ...

▶️  NEZIKOOKOLIMA: Abaana abakoze ebibuuzo ebyakamalirizo musigale nga mukyali baana awaka.  

Ssempijja ng'asomesa abalimi.

Okugattika ebirime kye kiku...

MINISITA w'obulimi obulunzi n'obuvubi, Vincent Ssempijja asinzidde mu disitulikiti y'e Bukomansimbi n'ategeeza...

Abakristaayo lwe basabira wabweru ku Ssande.

Obulabirizi bw'e Namirembe ...

OBULABIRIZI bw'e Namirembe buyingidde mu nkaayana z'ettaka ly'ekkanisa e Kyanja n'ebugumya Abakristaayo  okusigala...

Jonathan McKinstry (wakati) ng'abuulirira Khalid Aucho (ku kkono) ne Mike Azira (ku ddyo).

Micheal Azira naye annyuse ...

MICHEAL Azira agucangira mu kiraabu ya New Mexico United yeegasse ku bassita ba Cranes babiri abakannyuka omupiira...

Nyombi ng'alaga olubuto mw'afulumira.

Afulumira mu kapiira alaajanye

OMUVUBUKA ow'emyaka 32 alaajana oluvannyuma ly'okumulongoosa ekyenda n'atawona nga kati yeetaaga obukadde butaano...