TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abakyala balaajanye ku mivuyo mu katale k'e Wandegeya

Abakyala balaajanye ku mivuyo mu katale k'e Wandegeya

Added 26th February 2021

"Twagala pulezidenti ayingire mu nsonga zaffe kubanga tetuganyuddwa mu nteekateeka zonna ze yateeka mu katale kaffe ak'e Wandegeya,"

Omu ku bakyala eyakulembedde banne abafumba emmere mu katale k'e Wandegeya ng'alaajanira pulezidenti Museveni okuyingira mu nsonga ezibasoomooza mu katale.

Omu ku bakyala eyakulembedde banne abafumba emmere mu katale k'e Wandegeya ng'alaajanira pulezidenti Museveni okuyingira mu nsonga ezibasoomooza mu katale.

ABAKYALA abatunda emmere e Wandegeya balaajanidde Pulezidenti Museveni okuyingira mu mivuyo egiri mu katale kabwe. Bano abaakulembeddwa Aisha Nalukwago ne Benna baalaze okusomoozebwa kwe basanga omuli;

  • Obutaganyulwa mu pulojekiti y'okufumbira  emmere abamu ku bayizi b'ettendekero (erisomesa emirimu gy'omu mutwe) eryatandikiddwaawo pulezidenti  mu katale kabwe .
  •  Okubaguza amazzi ku buseere ng'ekidomola kigula wakati wa 200 ne 1,000/- (singa wabeerawo ebbula lyago  mu katale). 
  • Ebbeeyi y'emmere gye balumiriza  okuva ku 5,000/- (ze baasooka  okukkaanyaako ne gavumenti ku buli ssowaani) okutuuka  ku 2,000/- ezaagerekeddwa obukulembeze bw'akatale.
Omu ku bakyala eyakulembedde banne abafumba emmere mu katale k'e Wandegeya ng'alaajanira pulezidenti Museveni okuyingira mu nsonga ezibasoomooza mu katale.
Omu ku bakyala eyakulembedde banne abafumba emmere mu katale k'e Wandegeya ng'alaajanira pulezidenti Museveni okuyingira mu nsonga ezibasoomooza mu katale.
  • Obutali bwenkanya mu ngabanya y'emidaala gy'akatale kabwe ekivuddeko bamufunampola obutafuna midaala ne giweebwa abagagga.
  • Enguzi abasuubuzi gye balumiriza okubeera nga yawaliriza obukulembeze bw'ettendekero lya pulezidenti okukolagana n'obukulembeze obukadde mu nteekateeka y'okuliisa abayizi.

"Twagala pulezidenti  ayingire mu nsonga zaffe kubanga tetuganyuddwa  mu nteekateeka zonna ze yateeka mu katale kaffe," Aisha Nalukwago ,omu ku bakyala abatundira emmere mu katale k'e Wandegeya bwe yategeezezza.

Ssentebe w'akatale kano, Issa Ssekimpi n'akulira abakyala, Mai Nabukenya basabye abakyala bano okubeera abakkakkamu okutuusa nga bafunye okwanukulwa okuva mu KCCA gye bagambye nti bagitegeezezza ku nsonga zabwe.

Ate omwogezi wa KCCA, Daniel Nuwabine yategeezezza nti ensonga z'akatale k'e Wandegeya bazimanyi  era essaawa yonna bagenda kutuula nabo bazigonjoole.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasomesa nga baweebwa ebigezo by'amasomero gaabwe.

Enkuba teremesezza bigezo k...

Wadde ng'enkuba yakedde kutonnya mu bitundu by'omu disitulikiti y'e Kalungu teyalemesezza bakulu b'amasomero kunona...

Omuzibizi wa Arsenal eyafun...

Tierney yafunye obuvune mu vviivi era asuubirwa okumala ebbanga eriwerako nga tazannya wabula Arteta agamba nti...

Bassita ba Leicester bameny...

TTIIMU ya Leicester eraze lwaki abazannyi baayo basatu baayo basatu tebaazannye mupiira gwa Premier, West Ham bwe...

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...