TOP

Mututaase ku mivuyo mu katale k'e Wandegeya

Added 27th February 2021

ABAKYALA abatunda emmere e Wandegeya balaajanidde Pulezidenti Museveni okuyingira mu mivuyo egiri mu katale kaabwe. Bano abaakulembeddwa Aisha Nalukwago ne Benna baalaze okusoomoozebwa kwe basanga omuli; 1.Obutaganyulwa mu pulojekiti y’okufumbira emmere abamu ku bayizi b’ettendekero(erisomesa emirimu gy’omu mutwe) eryatandikiddwaawo pulezidenti mu katale kabwe.

Omu ku bakyala mu katale k’e Wandegeya ng’alaajanira pulezidenti Museveni okuyingira mu nsonga zaabwe.

Omu ku bakyala mu katale k’e Wandegeya ng’alaajanira pulezidenti Museveni okuyingira mu nsonga zaabwe.

ABAKYALA abatunda emmere e Wandegeya balaajanidde Pulezidenti Museveni okuyingira mu mivuyo egiri mu katale kaabwe. Bano abaakulembeddwa Aisha Nalukwago ne Benna baalaze okusoomoozebwa kwe basanga omuli; 1.Obutaganyulwa mu pulojekiti y'okufumbira emmere abamu ku bayizi b'ettendekero(erisomesa emirimu gy'omu mutwe) eryatandikiddwaawo pulezidenti mu katale kabwe.

2. Okubaguza amazzi ku buseere.

3. Ebbeeyi y'emmere okuva ku 5,000/- (ze baasooka okukkaanyaako ne gavumenti ku buli ssowaani) eri abayizi okutuuka ku 2,000/- ezaagerekeddwa obukulembeze bw'akatale.

4. Obutali bwenkanya mu ngabanya y'emidaala. 5. Enguzi abasuubuzi Wandegeya gye balumiriza okubeera nga yawaliriza obukulembeze bw'ettendekero lya pulezidenti okukolagana n'obukulembeze obukadde mu nteekateeka y'okuliisa abayizi.

"Twagala pulezidenti ayingire mu nsonga zaffe kubanga tetuganyuddwa mu nteekateeka zonna ze yateeka mu katale kaffe," Aisha Nalukwago, omu ku batundira emmere mu katale k'e Wandegeya bwe yategeezezza. Ssentebe w'akatale kano, Issa Ssekimpi n'akulira abakyala, Mai Nabukenya basabye abakyala bano okubeera abakkakkamu okutuusa nga bafunye okwanukulwa okuva mu KCCA.

Ate omwogezi wa KCCA, Daniel Nuwabine yategeezezza nti ensonga z'akatale k'e Wandegeya bazimanyi era essaawa yonna bagenda kutuula nabo bazigonjoole.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...