
Arinaitwe owa Posita ne Nabakooba mu kutongoza ku mukolo.
ABANTU basabiddwa okwenyigira mu nkola y'omutimbagano nga batambuza ebintu byabwe okuva mu kitundu ekimu okutuuka mu kirala. Minisita w'ebyamawulire n'empuliziganya, Judith Nabakooba bino yabyogedde atongoza enkola ya posita ey'okumutimbagano eyatuumidwa "eposta".
Mu nkola eno omuntu asobola okwewandiisa n'afuna endagiriro ye, kyokka eno eyawukana n'eyokukozesa obubokisi obuli ku bitebe bya posita ebyenjawulo nga wano omuntu akolera ku mutimbagano. Baleese enkola ya posita ey'oku mutimbagano era yagambye nti mu nkola eno omuntu asobola okuteeka omukutu guno ku ssimu ye (App) olwo n'asobola okulondoola ebintu bye okutuuka gye biraga.
Ebitongole bya gavumenti okuli ekya Uganda Communications Commission (UCC), Uganda Regstrations Service Bearuae (URSB), National Identifi cation Authority (NIRA) n'ebirala byakukozesa enkola eno. Abakulira ebitongole bino okwabadde James Arinaitwe owa Posta, Irene Kaggwa Ssewankambo (UCC) n'abalala baabaddewo mu kontongoza enkola eno ku Media Centre mu Kampala.