TOP

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwanuka

Added 27th February 2021

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia Lutikko e Lubaga.

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n'aziikibwa mu Eklezia Lutikko e Lubaga.

Mmisa y'okumujjukira yakulembeddwa omu ku bamyuka ba Bwanamukulu w'e Lubaga, Fr. Kabagira ng'ayambibwako Fr. Henry Mubiru. Fr. Kabagira yategeezezza nti Kiwanuka yafuuka Ssaabasumba ku myaka 39 egy'obukulu. Ssaabasumba Kiwanuka yazaalibwa Nakirebe abagenzi Victoro Katumba Mundu -kanika ne Felicitas Nankya Namukasa Ssabawebwa nga June 25, 1899.

Yali ssaabasumba okuva mu 1960 okutuuka bwe yafa mu 1966. Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga beegattiddwaako ssentebe wa Lubaga Foundation, Dr. Saturninus Kasozi Mulindwa n'abalala ne baganzika ekimuli ku ntaana ye.

Ssaabasumba Kiwanuka okusooka yali ateereddwa mu ntaana g'omubiri gwe abajja ku ntaana ye bagulaba naye oluvannyuma entaana yonna n'ezimbibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasomesa nga baweebwa ebigezo by'amasomero gaabwe.

Enkuba teremesezza bigezo k...

Wadde ng'enkuba yakedde kutonnya mu bitundu by'omu disitulikiti y'e Kalungu teyalemesezza bakulu b'amasomero kunona...

Omuzibizi wa Arsenal eyafun...

Tierney yafunye obuvune mu vviivi era asuubirwa okumala ebbanga eriwerako nga tazannya wabula Arteta agamba nti...

Bassita ba Leicester bameny...

TTIIMU ya Leicester eraze lwaki abazannyi baayo basatu baayo basatu tebaazannye mupiira gwa Premier, West Ham bwe...

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...