TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kkooti etandise okuwulira omusango abatuuze b'e Nakawa gwe bavunaana KCCA

Kkooti etandise okuwulira omusango abatuuze b'e Nakawa gwe bavunaana KCCA

Added 2nd March 2021

OMULAMUZI Yasin Nyanzi atandise ku nteekateeka y’okuwulira omusango gw’abatuuze b’e Nakawa abaasengulwa ku luguudo lw’eggaali y’omukka mu 2014 gwe bawawaabira ekitongole kya KCCA.

Abamu ku batuuze abaabadde mu kkooti.

Abamu ku batuuze abaabadde mu kkooti.

OMULAMUZI Yasin Nyanzi atandise ku nteekateeka y'okuwulira omusango gw'abatuuze b'e Nakawa abaasengulwa ku luguudo lw'eggaali y'omukka mu 2014 gwe bawawaabira ekitongole kya KCCA.

Agaanye okuggya eyali akulira ekitongole kino, Jennipher Musisi mu musango guno nga munnamateeka wa KCCA, Doreen Tusiime bw'abadde asabye. Baabadde mu kkooti ye by'ettaka ku Twed Towers mu Kampala nga yatudde okukkaanya ku bye bagenda okugoberera nga bawoza omusango.

Tusiime yagambye nti teyaweereddwa biragiro biwolereza eyali akulira ekitongole kya KCCA Jenipher Musisi, akulira okuteekerateekera ekibuga Kampala, Moses Atwine n'eyali akulira ebikwekweto bya poliisi mu KCCA, Kituma Rusoke kubanga tebakyali bakozi mu kitongole kino.

Wabula omulamuzi Nyanzi yagambye nti kino tekisoboka kubanga emisango gye babavunaana baagikola ku lwa KCCA ate nga Tusiime kye kitongole kyakikiridde. Bano abatuuze babavunaana okujeemera ebiragiro by'omulamuzi Flavia Nassuna ekyali kibagaana okubamenya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...