TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ekkubo ly'omusaalaba libeera lya buli lunaku - Fr. Kabanda

Ekkubo ly'omusaalaba libeera lya buli lunaku - Fr. Kabanda

Added 2nd March 2021

NG’OGGYEEKO Olwokutaano Olutukuvu olutambuzibwako ekkubo ly’omusaalaba, mu kisiibo tulagirwa okutambuza ekkubo ly’omusaalaba wadde nga si Lwakutaano Lutukuvu nga Fr. Edward Kabanda ow’e Kiwamirembe bw’annyonnyola;

Fr. Kabanda.

Fr. Kabanda.

Bya SCOVIA BABIRYE
NG'OGGYEEKO Olwokutaano Olutukuvu olutambuzibwako ekkubo ly'omusaalaba, mu kisiibo tulagirwa okutambuza ekkubo ly'omusaalaba wadde nga si Lwakutaano Lutukuvu nga Fr. Edward Kabanda ow'e Kiwamirembe bw'annyonnyola;
Obudde bw'Ekisiibo butambulira ku mpagi ssatu (3) okuli; okwegayirira, okusiiba n'okutoola ku byaffe ne tuwa ku balala abali mu bwetaavu. Empagi esooka erimu okwegayirira era mwe tusanga ekkubo ly'omusaalaba kuba ye ssaala yaffe abakkiriza.
Ekkubo ly'omusaalaba y'engeri Mukama waffe Yezu gye yayitamu okukowoola ekisa kya Katonda eri abantu bonna era ekisa ekyo yakitufunira bwe yagamba nti "Kitange basonyiwe tebamanyi kye bakola", nga bwe tukisoma mu Lukka 23:34 awo kye tuva tweyambisa obudde buno ne tutambuza ekkubo ly'omusaalaba nga tugiwaayo ng'essaala ey'okwenenya n'okwegayirira Katonda atusonyiwe ebibi byaffe.
Eklezia omuzadde akubiriza abakkiriza okutambuza omusaalaba nga twebuulirira, twenenya eri ebyo ebitta omukwano gwaffe ne Katonda kuba ebibi byaffe bye`

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasomesa nga baweebwa ebigezo by'amasomero gaabwe.

Enkuba teremesezza bigezo k...

Wadde ng'enkuba yakedde kutonnya mu bitundu by'omu disitulikiti y'e Kalungu teyalemesezza bakulu b'amasomero kunona...

Omuzibizi wa Arsenal eyafun...

Tierney yafunye obuvune mu vviivi era asuubirwa okumala ebbanga eriwerako nga tazannya wabula Arteta agamba nti...

Bassita ba Leicester bameny...

TTIIMU ya Leicester eraze lwaki abazannyi baayo basatu baayo basatu tebaazannye mupiira gwa Premier, West Ham bwe...

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...