TOP

KCCA yeddizza ekibangirizi ky'e Kamwokya

Added 2nd March 2021

ABAVUBUKA e Kamwokya ababadde bawambye ekibangirizi ky’ettaka lya KCCA basobeddwa bw’ekizinzeeko n’ekikubako olukomera n’ebawa ebiragiro nti teyagala kulaba addamu kukikozesa nga tasabye lukusa.

Aba KCCA nga basiba sseng’enge ku kibangirizi.

Aba KCCA nga basiba sseng’enge ku kibangirizi.

Bya HANNINGTON NKALUBO                                                                                                                                                                                            ABAVUBUKA e Kamwokya ababadde bawambye ekibangirizi ky'ettaka lya KCCA basobeddwa bw'ekizinzeeko n'ekikubako olukomera n'ebawa ebiragiro nti teyagala kulaba addamu kukikozesa nga tasabye lukusa.

Agaba.

Ekibangirizi kino ekisangibwa mu maaso ga Bank ya Opportunity e Kamwokya okumpi n'ekitebe ky'ekibiina kya NUP ku luguudo lwa Old Kira Road, KCCA yakyeddizza ku Lwokutaano. KCCA yasoose kuyiwa baserikale baayo ku kibangirizi kino n'efuna ne loole ya poliisi nnamba okugendawo.

Gye buvuddeko aba KCCA baagendawo okwezza ekibangirizi kino kyokka abavubuka nga bawagirwa abakulembeze ne babatwala nga tebalinnya. Ku Lwokutaano, aba KCCA baagenze beetegekedde olutalo kyokka abavubuka tebaatawaanye kulwana na baserikale ne bavaawo.

Ekibangirizi kiweza obunene bwa yiika nnamba. Akulira okutegekera Kampala Central era atambulirwako ebya pulaani n'okuzimba mu Kampala Central, Valley Agaba yagambye nti ekibangirizi kyabwe kibadde kirugenze. Yalabudde nti waliwo ababadde bakozesa abavubuka n'ekigendererwa ky'okutwala ettaka eryo.

Agaba yalambise nti aba bbanka ababadde basimbamu mmotoka n'abamu ku bavubuka aboolezaamu mmotoka baddembe okusigala kasita mu kiseera kino nga KCCA tebannaba kulikulaakulanya. Wabula kansala w'ekitundu Daud Lwanga yategeezezza nti bonna ng'abakulembeze bakimanyi nti ettaka lya KCCA era nti ababadde n'ebigendererwa ebiritwala babadde bvakyamu.

Kyokka yasabye KCCA ekkirize ekibangirizi ekyo kikozesebwe abaana okuzanyiramu kubanga ebyalo byonna e Kamwokya tebirina wadde ekibangirizi abaana we bazannyira. Lwanga yagambye nti KCCA ekisimbeko emiti n'okukitereeza abatuuze basobole okukiwummuliramu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasomesa nga baweebwa ebigezo by'amasomero gaabwe.

Enkuba teremesezza bigezo k...

Wadde ng'enkuba yakedde kutonnya mu bitundu by'omu disitulikiti y'e Kalungu teyalemesezza bakulu b'amasomero kunona...

Omuzibizi wa Arsenal eyafun...

Tierney yafunye obuvune mu vviivi era asuubirwa okumala ebbanga eriwerako nga tazannya wabula Arteta agamba nti...

Bassita ba Leicester bameny...

TTIIMU ya Leicester eraze lwaki abazannyi baayo basatu baayo basatu tebaazannye mupiira gwa Premier, West Ham bwe...

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...