TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Alina poloti etaweza 50 ku 100 teri kumuwa pulaani

Alina poloti etaweza 50 ku 100 teri kumuwa pulaani

Added 3rd March 2021

Minisitule y’eby’ettaka n’okuteekerateekera ebibuga bafulumizza enteekateeka empya ey’okuzimba mu bibuga. Bategeezezza nti omuntu alina poloti eteweza ffuuti 50 ku 100 tebagenda kumuwa pulaani wadde okumukkiriza okugizimbamu.

Abamu ku beetabye mu lukiiko.

Abamu ku beetabye mu lukiiko.

Bya   Ali   Wasswa

Minisitule  y'eby'ettaka n'okuteekerateekera ebibuga bafulumizza enteekateeka empya ey'okuzimba mu bibuga. Bategeezezza nti omuntu alina poloti eteweza ffuuti 50 ku 100 tebagenda kumuwa pulaani wadde okumukkiriza okugizimbamu.

Theo Tibiika ng'aliko byannyonnyola abaabadde mu lukiiko.

Era baalagidde abazimba okulekawo amakubo, oluggya lwonna obutalusibaamu pevaazi oba okuluyiwa enkokoto nga kati tteeka okulekawo ekitundu w'osimba omuddo.

     Bino  byayogeddwa  omwogezi  w'ekitongole  ekikola ku by'okuteekerateekera ebibuga mu minisitule y'ebyettaka n'okukulaakulanya ebibuga, Dennis Obbo. Yabadde asisinkanye abakulembeze ba Mbarara City omwabadde: Town Clerk, Theo Tibiika  ne Mmeeya Robert Kakyebezi wamu n'abakakiiko ka Mbarara City Development Agency  nga bakulembeddwa Martin Kananura .

Obbo yategeezezza nti   minisitule  y'ebyettaka ng'eri wamu ne minisitule ya Gavumenti ez'ebitundu nga bayita mu nkola ya USMID basazeewo okutendeka abakulembeze mu bibuga ebyakasuumuzibwa okutuuka ku ddaala lya City okwewala ebibuga bino okufuna obuzibu mu maaso nga Kampala bw'ali kati.

Obbo yagambye nti mu kiseera kino okufuna amakubo amatuufu mu Kampala balina kumenya mayumba g'abantu ekintu ekikaluubiriza abamu obulamu. Town Clerk yategeezezza nti abantu bonna abazimba balina okubeera ne pulaani eyisiddwa.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasomesa nga baweebwa ebigezo by'amasomero gaabwe.

Enkuba teremesezza bigezo k...

Wadde ng'enkuba yakedde kutonnya mu bitundu by'omu disitulikiti y'e Kalungu teyalemesezza bakulu b'amasomero kunona...

Omuzibizi wa Arsenal eyafun...

Tierney yafunye obuvune mu vviivi era asuubirwa okumala ebbanga eriwerako nga tazannya wabula Arteta agamba nti...

Bassita ba Leicester bameny...

TTIIMU ya Leicester eraze lwaki abazannyi baayo basatu baayo basatu tebaazannye mupiira gwa Premier, West Ham bwe...

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...