
Christine Luttu, Pulezidenti wa Rotary Club y'e Kololo ng'akwasa Charles Mugme (ku ddyo) engule.
Bya Ponsiano Nsimbi
ABA Lotale y'e Kololo basiimye abamu ku bammemba baabwe abakoleredde ennyo ekibiina kyabwe mu kutuusa obuweereza ku bantu.

Omukolo guno gwabadde ku Hotel Africana kwe baasiimidde bammemba baabwe okuli: Charles Mugume omutandisi w'eddwaaliro lya St.Stephen Mpererwe. Mugume ne mukyala we baweereddwa engule ne bbaasa okusiima emirimu gye bakoledde Bannayuganda nga bayita mu kutuusa obujjanjabi ku bantu.
Abalala abasiimiddwa kuliko: Stanel Mpamize, Ham Tumuhaire, Dominic Tumwesigye, Fredrick Kizza Mubiru ne Bonny Nsambu.
Ebirabo bino byabakwasiddwa Pulezidenti wa lotale y'e Kololo, Dr.Christine Luttu ne Xavier Ssentamu eyali disitulikiti gavana wa zooni 9211 etwala Uganda ne Tanzania. Ssentamu yasiimye bammemba bano olw'okuyamba abali mu bwetaavu n'okufaayo okuyambanga bammemba naddaala mu kiseera kino nga balwawo okusisinkana olw'ekirwadde kya Covid 19.
Mugume amaze emyaka 26 ng'akola omulimu gw'okujjanjaba abantu era eddwaaliro lino likyusizza nnyo obulamu bw'abantu mu kitundu nga kino kye kimu banne kwe baasinzidde okumulonda.
Dr. Benon Kigozi akulira ekitongole ky'okuyitibwa yagambye nti Mugume akozesezza bulungi obukugu bwe okutuusa obuweereza n'okukyusa obulamu bw'abantu mu bwesimbu naddala mu kiseera ky'omuggalo gwa Covid19.
Mugume yasiimye banne olw'okulaba enjawulo mu bintu byakola ne bamusiima n'obuwagizi bwe bazze bawa eddwaaliro lye mu bintu ebikozesebwa.