
Kafeero eyakwatiddwa ne mukyala we.
Bya Nagudi Fatumah
ABANTU 4 okuli n'omusawo w'ebisolo bakwatiddwa mu kikwekweto ky'okufuuza abatunda eddagala ly'ebisolo ery'ebicupuli mu disitulikiti y'e Sheema.

Abakwatiddwa kuliko: Eldard Tumwebaze omuvuzi wa boodabooda e Mbarara, Denis Kakuru ne Wilson Kafeero omusawo w'ebisolo ne mukyala we Olive Kafeero.
Kiddiridde ekitongole ekivunaanyizibwa ku mutindo gw'ebyeddagala mu ggwanga ekya National Drug Authority (NDA) okufuna okwemulugunya okuva mu balunzi ku ddagala ly'ebicupuli n'eritakkirizibwa eritundibwa.

Bano baabagguddeko emisango etaano omuli: okutunda eddagala eritakkirizibwa, obutaba na layisinsi n'emirala. Ye Kafeero ne mukyala we baatwaliddwa mu kkooti y'e Kagango-sheema,omulamuzi w'eddaala erisooka Stella Mwali n'abasindika ku limanda. Obucupa 95 obw'eddagala lya Tick burn spray bwe bwakwatiddwa.
Akulira eby'ebisolo mu kitongole kya NDA, Dr. Jeane Muhindo yategeezezza nti eddagala lya Tick burn lirimu ebirungo ebikambwe eby'obulabe eri abantu ng'ate mu kifo ky'okulitunda 20, 000/- babadde balitunda 120,000/- buli liita ekintu ekikyamu kubanga bababba.