TOP

Omubiri n'omutima bye bituwonya okuzikirira'

Added 4th March 2021

ROSEMARY Kiraalire mutuuze w’e Kirimannyaga - Zzana. Yayanjula bba Damiano Kiraalire mu 1991 ne batandika amaka ne bafuna n’abaana. Kyokka olw’okuba yali ayingidde obufumbo obutali Butukuvu abakulu mu ddiini ne bamugaana okuddamu okusembera. Attottola amaanyi g’okusiiba bwe gaamuzza ku ssakalamentu lya Ukarisitiya bwati.

‘Okusiiba kwanziza ku masakalamentu’ Rosemary Kilaarire.

‘Okusiiba kwanziza ku masakalamentu’ Rosemary Kilaarire.

ROSEMARY Kiraalire mutuuze w'e Kirimannyaga - Zzana. Yayanjula bba Damiano Kiraalire mu 1991 ne batandika amaka ne bafuna n'abaana. Kyokka olw'okuba yali ayingidde obufumbo obutali Butukuvu abakulu mu ddiini ne bamugaana okuddamu okusembera. Attottola amaanyi g'okusiiba bwe gaamuzza ku ssakalamentu lya Ukarisitiya bwati.
Bwe nnali sinnayanjula musajja nga nfuna essakalamentu lya Ukarisiya naye bwe natandika amaka abakulu mu Klezia ne bahhamba nti obufumbo bwange si butukuvu era sikkirizibwa kuddamu kusembera okutuusa nga mbutukuzza. Okuhhaana okusembera kyannyiiza ne kinnumya omutima era okuva olwo ne nsalawo ntandike okusaba Mukama annyambe ntuuke ku kkula ly'obufumbo Obutukuvu.
Mu mwaka gwa 2012 ng'ekisiibo kigenda okutandika, mu Mmisa ku Klezia baatugamba buli muntu asabe ky'ayagala Katonda amukolere mu kisiibo ekyo ng'ayita mu kwefiiriza, okwebonereza n'okuwaayo eri abatalina.
Nasalawo okusiiba nga nsiibira kimu mbaga nsobole okuddamu okusembera kuba omwami namugambanga ku mbaga ng'alaga tanneetegeka. Nasiibanga nsaba Mukama omwami wange amugonze omutima naye yeeegombe embaga.
Paasika y'omwaka ogwo bwe yaggwa, ku Klezia ne bategekayo okukuza olunaku lw'abafumbo era Mmisa eyo twagisoma ffembi n'okwenyigira mu mikolo gyonna wadde tetwali bafumbo. Mmisa ng'ewedde, Ssaabafumbo w'ekiseera ekyo bwe yatuuka okwogera yagamba nti, abafumbo baasazeewo balondeyo omugogo gwe bakolera embaga era balonze omwami n'omukyala Kiraalire!
Nasooka kusoberwa nga mpulira kino kirooto kyokka hhenda okudda engulu ng'angalo zibwatuka mu Klezia n'akaluulu. Baatugamba tugende mu maaso abantu bonna batulabe olwo lwe nkitegeera nti ekisiibo kyange Mukama akiwulidde wadde nga mu mutima nnali nkyalimu akakunkuna.
Embaga abantu baagikola era ne batutegekera buli kimu n'okutuukira ddala ku ‘hane muunu' nga ffe tetulina kye tutaddemu. Siryerabira kisiibo kya 2012 mwe nafunira obufumbo Obutukuvu ne nzira ku mmeeza Entukuvu.
Nasanyuka nnyo kubanga essuubi lyali likendedde nnali sisuubirayo muntu ayinza kunkolera mbaga nga sitaddeemu ssente yonna era awo we nneeyongerera okwesiga Mukama ne mmanya nti bw'osiiba mu mwoyo, n'osonyiwa ate n'oddizza ne ku balala ne Katonda akuwulira.
Twasigala tusiiba n'okwegayirira nga bwe tukola n'ebikolwa eby'ekisa era Mukama n'atuwa n'obukulembeze bw'omwami wange okubeera Ssaabafumbo w'ekigo kya Bunnamwaya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...