TOP

Bakoze lipooti ku kugwa kwa NRM mu Buganda

Added 4th March 2021

ABAVUBUKA ba NRM mu Kampala, nga bakulembeddwaamu Mahad Kaweesa eyakwatira ekibiina kya NRM bendera ku Bwammeeya bwa munisipaali y’e Lubaga mu kulonda okwakaggwa, era ssentebe w’abavubuka mu Lubaga, babaze lipoota gye baagala okutwalira ssentebe waabwe pulezidenti Museveni ku kyavaako NRM okugwa mu Kampala ne Buganda.

Kaweesa owa Lubaga (ku kkono) ne Tumusiime owa Kampala Central n’ekiwandiiko.

Kaweesa owa Lubaga (ku kkono) ne Tumusiime owa Kampala Central n’ekiwandiiko.

ABAVUBUKA ba NRM mu Kampala, nga bakulembeddwaamu Mahad Kaweesa eyakwatira ekibiina kya NRM bendera ku Bwammeeya bwa munisipaali y'e Lubaga mu kulonda okwakaggwa, era ssentebe w'abavubuka mu Lubaga, babaze lipoota gye baagala okutwalira ssentebe waabwe pulezidenti Museveni ku kyavaako NRM okugwa mu Kampala ne Buganda.

Baabadde mu lukiiko lwa bannamawulire ewa Bbakuli ku Mmande ne bategeeza nti, okuva January 14, 2021, bwe baalaba ng'ekibiina kya NRM kikoze bubi mu Kampala ne Buganda, baatandika okunoonyereza ensonga ezaavaako NRM okukola obubi mu disitulikiti ya Kampala, baazuula ng'ebisinga bikwata ku bbo ng'aba NRM, kwe kusalawo bawandiike lipoota eno bateekemu bye baazuula, bagitwalire ssentebe w'ekibiina kya NRM pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni alabe engeri gye binogerwamu eddagala.

Bagambye nti, baakizudde ng'abantu bangi mu NRM bajja kunogamu ssente, aba NRM abalina ebifo eby'enkizo mu kibiina abatagambwako abateekawo emivuyo egibaviirako okukyayibwa mu bantu. Brian Tumusiime ssentebe w'abavubuka mu Kampala Central agambye nti, enneeyisa y'ebitongole ebikuumaddembe, bannamawulire, aba NRM bennyini okuwagira abantu abalala, obutawa beesimbyewo ssente, KCCA okugobaganya abantu n'ebirala bye bimu ku biri mu lipoota. Bagamba nti waliwo ababatiisatiisa obutawaayo lipoota eno kyokka bo bamalirivu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Museveni n'owa Tanzania bat...

Abakulembeze b'amawanga okuli owa Uganda Yoweri Museveni ne Samia Suluhu Hassan owa Tanzania batadde omukono ku...

Abaami ba Kabaka abaweereddwa eggaali.

Kabaka awadde abaami b'amag...

Ssaabasajja Kabaka asiimye n'awa abaami be abamagombolola 29 agokola essaza lye Buddu entambula. Obuyambi...

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...