
Ttakisi yasibidde ku mulyango gwa ssomero.
ABANTU babiri baafi iriddewo n'abalala musanvu ne batwalibwa mu malwaliro ag'enjawulo nga bafunye ebisago, ttakisi mwe baabadde bwe yawabye n'etomera bodaboda.
Bino byabaddewo ku ssaawa nga 7:30 okumpi n'essomero lya Luweero Boys P/S, ttakisi ekika kya Drone UBJ 164M eyabadde eva e Kampala ng'edda e Luweero bwe yabadde eyisa loole ne yeekanga bbaasi eyabadde edda e Kampala n'agiwugula n'asaabala bodaboda UEG 809E eyabadde agivuga n'emuttirawo ate abasaabaze babiri abaagibaddeko nga bava okusuubula emboga mu katale k'abalimi ne batwalibwa mu ddwaaliro n'ebisago.
Ttakisi yeeyongeddeyo n'esibira ku kikondo kya UNRA okumpi n'omulyango gw'essomero lya Luweero Boy's P/S olwo ne yeefuula era wano kondakita waayo we yamunyigidde n'afi irawo. Omuduumizi wa poliisi mu disitulikiti ya Luweero, Abraham Tukundane yategeezezza nti akabenje kaavudde ku kuvugisa kimama.