TOP

Bakanyama bakoonye enju y'omutuuze

Added 4th March 2021

OMUTUUZE ali mu maziga oluvannyuma lwa bakanyama okukkakkana ku mayumba ge ne bagamenya n’okwonoona ebintu bye nga bamulanga kulemera ku ttaka. Bakanyama bano baasoose kusalako ekyalo Namabele mu divizoni y’e Nyenga mu disitulikiti y’e Buikwe nga babagalidde emiggo, embazzi, ensuuluulu, ennyondo n’ebirala.

Ennyumba ya Nakiberu  eyakoneddwa.

Ennyumba ya Nakiberu eyakoneddwa.

Bya EMMANUEL BALUKUSA                                                                                                                                                  OMUTUUZE ali mu maziga oluvannyuma lwa bakanyama okukkakkana ku mayumba ge ne bagamenya n'okwonoona ebintu bye nga bamulanga kulemera ku ttaka. Bakanyama bano baasoose kusalako ekyalo Namabele mu divizoni y'e Nyenga mu disitulikiti y'e Buikwe nga babagalidde emiggo, embazzi, ensuuluulu, ennyondo n'ebirala.

Nakiberu.

Proscovia Nakiberu gwe baakoonedde amayumba yategeezezza nga bakanyama bano bwe baamusalako ku Ssande nga bukya nga baasooka kumukonkona olwaggulawo ne bamutegeeza nga bwe baali batumiddwa Omuyindi nnannyini kkolero lya sukaali erya GM Sugar eyategeerekeseeko erya Akash okukoona ennyumba ye olw'okulemera ku ttaka.

Nakiberu yategeezezza nga bwe yabeegayirira obutakoona nnyumba ye n'abalaga n'ebbaluwa minisita w'ebyettaka, Beti Kamya gye yawandiikira RDC w'e Buikwe ng'ayimiriza okugoba abatuuze ku ttaka lino wabula tebaawulirizza.

Yategeezezza nti bakanyama baakulembeddwaamu omusajja eyategeerekeseeko erya Maliki eyakkaatirizza ng'ettaka kwe bali bwe liri ery'Omuyindi Akash nga liddukanyizibwa MMP Industrial park. Nakiberu yategeezezza ng'Omuyindi bwe yasooka okukozesa abapoliisi n'amagye okugoba abatuuze n'okubakaka okukwata ssente entono bave ku ttaka wabula abatuuze ne baddukira mu bakulembeze n'ewa minisita Kamya ssaako Palamenti era minisita Kamya nga February 5, omwaka guno yawandiikira RDC w'e Buikwe, Jane Francis Kagayi ng'amulagira okuggya abaserikale ku ttaka lino n'okuyimiriza okusengula n'okumenya amayumba g'abantu.

Nakiberu yategeezezza nti abaamenye ennyumba ze baayonoonye ebintu bye ne badduka ne ssente z'ekibiina. Ono yategeezezza nga bw'abadde omuwanika w'ekyalo era nga musuubuzi wa byannyanja era nga bakanyama babbye ssente obukade 37. Nakiberu yaddukidde ku Poliisi y'e Njeru n'atayambibwa kwe kugenda ewa RDC Kagayi. Ennyumba endala ezisoba mu 20 nazo baazimenye.

RDC Kagayi yategeezezza ng'abamenye ennyumba bwe baakikoze mu bukyamu era yalagidde Poliisi ebanoonye ebakwate n'alagira n'Omuyindi Akash okuliyirira Nakiberu. Akash teyafunise kunnyonnyola ku nsonga eno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...