TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abazannya komedi wa 'Bizzonto' basimbiddwa mu kkooti

Abazannya komedi wa 'Bizzonto' basimbiddwa mu kkooti

Added 6th March 2021

POLIISI ezzeemu okukwata abasajja abazannya komedi wa ‘Bizzonto’ ne basimbibwa mu kkooti ya Buganda Road gye babasomedde emisango egy’okusosola mu mawanga.

Abazannya ‘Bizzonto’ nga beegezaamu.

Abazannya ‘Bizzonto’ nga beegezaamu.

Bya JOSEPH MAKUMBI                                                                                                                                                                     POLIISI ezzeemu okukwata abasajja abazannya komedi wa ‘Bizzonto' ne basimbibwa mu kkooti ya Buganda Road gye babasomedde emisango egy'okusosola mu mawanga.

Julius Sserwanja 35, eyeeyita Ssaabazzonto, Mbabali Maliseeri 36, ne Gold Ki-Matono 49, poliiisi yabayodde bali ku Radio Simba gye bakeera ku pulogulaamu ‘Binsangawano' wabula munnaabwe owookuna , Peter Ssaabakaaki 35, eyeeyita ‘Young Zzonto' yakeereye okutuuka ku mulimu bannaabwe ne babayoola nga ye tannatuuka.

Abaserikale abaabadde beesabise nga bakkomando be baakutte ba ‘Bizzonto' ne babatwala butereevu mu kaduukulu ka kkooti ya Buganda Road omulamuzi gye yabasomedde omusango gw'okwawula mu mawanga nga bayita mu katemba waabwe.

Ba ‘Bizzonto' baasooka kukwatibwa nga July 24, 2020 ne baggalirwa mu kaduukulu ka poliisi e Kireka wabula oluvannyuma lw'ennaku baayimbulwa ku kakalu ka poliisi. Omwogezi w'ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw'emisango, Charles Mansio Twine yagambye nti, ‘Bizzonto' baabuuka akakalu ka poliisi ne babassa akasiiso okutuusa omuwaabi w'emisango gya Gavumenti lwe yalagidde batwalibwe mu kkooti.

Empaaba ya kkooti eyateekeddwaako omukono gwa Jane Frances Abodo omuwaabi w'emisango gya Gavumenti omukulu eraga nti, nga bayita mu katemba mu July 2020, baakola obutambi ne babusaasaanya ku mikutu gya yintaneeti nga bulimu obubaka obuyinza okuvaako okwawulayawula mu bantu bwe baagamba nti, ebifo eby'enkizo byonna mu Gavumenti bimaamiddwa bantu ba ggwanga limu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...