TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abawala 300 mu Kalungu bazzeeyo ku masomero n'embuto

Abawala 300 mu Kalungu bazzeeyo ku masomero n'embuto

Added 6th March 2021

OMUBAKA wa Gavumenti, Pastor Caleb Tukaikiriza agugumbudde abazadde abatatuukirizza buvunaanyizibwa bw’okukuuma abaana baabwe abatannaweza myaka 18 ne bafunira embuto mu muggalo gwa COVID 19.

Pasita Caleb Tukaikiriza ng'ayogera mu lukiiko. Ku ddyo ye Bbaale.

Pasita Caleb Tukaikiriza ng'ayogera mu lukiiko. Ku ddyo ye Bbaale.

Bya Ssennabulya Baagalayina

OMUBAKA wa Gavumenti,  Pastor Caleb Tukaikiriza agugumbudde abazadde abatatuukirizza buvunaanyizibwa bw'okukuuma abaana baabwe abatannaweza myaka 18 ne bafunira embuto mu muggalo gwa COVID 19.

Abamu ku beetabye mu lukiiko.

Wano wasinzidde okwejjeereza abasomesa ku biboogerwako bulijjo nti bakabawaza abayizi baabwe n'agamba nti ku lulwe abasonyiye ku bibawayirizibwa.

    RDC Tukaikiriza abyogeredde mu musomo gw'aboobukiiko n'abakulira amasomero ogwabadde ku Lukaya Seed School.  Gwagendereddwamu  okubajjukizza obuvunaanyizibwa  bwabwe mu kutumbula ebyenjigiriza n'okuyimirizaawo amasomero nga gwabategekeddwa DEO David Bbaale Mukasa.

Abamu ku beetabye mu lukiiko.

    RDC Tukaikiriza ayatulidde abazadde nti alipoota y'abawala e 300 abaafunidde awaka embuto yayolesezza abazadde nga bwe baasuula edda obuvunaanyizibwa bwabwe obw'okukuuma abaana abawala ze bataasobola kufunira ku masomero.

    Akubiriza aboobukiiko okunyweza ebyokwerinda ne yennyamira entalo z'ettaka ezisukkiridde mu Kalungu omuli n'abafamire abasojjagana olw'eby'obugagga bya bakadde baabwe.

   Obuzibu abutadde ku bazadde abatateekateeka baana baabwe ne beefunyirira mu kubategekera kyokka ne babitunda amangu ddala nga bakabaziika.

    Abasibiridde entanda nti empisa mu baana n'okubasomesa nga batya Katonda by'ekikulu okusinga obugagga bwonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...