
Omusajja ng'alaga ebintu ebyasangiddwayo.
Bya Martin Kizza
Abatuuze b'e Nateete baddukidde ku poliisi ne bagisaba ekwatagane n'ekitongole kya KCCA okulaba nga bamenyawo ebiyumba ebyekwekamu ababbi ababatigomya.

Abatuuze bano bagamba nti abavubuka bano bava mu bitundu by'e Nansana ne ku Northern By Pass ne batulugunya abasuubuzi nga bababbako obusawo ne ssente naddala ng'obudde buwungedde.
Baategeezezza nti bwe bagezaako okukuba enduulu nga babulira mu biyumba bino.