TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mukono bayisizza ekiteeso Nakifuma efuulibwe disitulikiti

Mukono bayisizza ekiteeso Nakifuma efuulibwe disitulikiti

Added 6th March 2021

Abakiise ku lukiiko lwa disitulikiti y'e Mukono bakanyiiza ne bayisa ekiteeso eky'e Ssaza ly'e Nakifuma okwekutula ku Mukono efuke disitulikiti eyentogodde. Ekiteeso kino kireeteddwa omukiise wa ggombolola y’e Kasawo, Samalie Musenero ne kisembebwa abakiise bonna.

Ali Kalungi eyali RDC we Otuke, Rev. Peter Bakaluba Mukasa ssentebe wa LCV omulonde ne RDC Fatumah Ndisaba Nabitaka mu lutuula lwa  kanso y'e Mukono.

Ali Kalungi eyali RDC we Otuke, Rev. Peter Bakaluba Mukasa ssentebe wa LCV omulonde ne RDC Fatumah Ndisaba Nabitaka mu lutuula lwa kanso y'e Mukono.

Bya Eric Yiga                                                                                                                                                                                      Abakiise ku lukiiko lwa disitulikiti y'e Mukono bakanyiiza ne bayisa ekiteeso eky'e Ssaza ly'e Nakifuma okwekutula ku Mukono efuke disitulikiti eyentogodde. Ekiteeso kino kireeteddwa omukiise wa ggombolola y'e Kasawo, Samalie Musenero ne kisembebwa abakiise bonna. (Ebif. Bya Eric Yiga)

Kansala Samali Musenero ng'aleeta ekiteeso.

Musenero ategeezezza nti Bannakifuma abakwatibwako ensonga eno baatuula ne bateesa era ne basalawo okufuulibwa disitulikiti nga beesigama ku nsonga eziwerako omuli okuba n'omuwendo gw'abantu ogwetaagibwa mu mateeka, okusembeza obuweereza okumpi n'abantu n'ebirala.

Hajji Asuman Muwumuza ng'asemba ekiteeso ky'okukutula Nakifuma ku Mukono.

Omu ku bakiise abawagidde ekiteeso kino Hajji Asuman Muwumuza ow'e Koome agamba nti nga bbo ab'e Mukono South nabo bakisemba nti kuba Nakifuma erina buli ekyetaagisa okufuuka disitulikiti.

Omukubiriza w'olukiiko luno Emmanuel Mbonye asabye Minisita owa gavumenti ez'ebitundu Raphael Magyezi okukola ekyetaagisa okutwala ekiteeso kino mu Palamenti okulaba nga kino kituukirizibw kuba Nakifuma yalwawo okufuuka disitulikiti olw'entalo z'ebyobufuzi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...