
Abatuuze nga baziika Ssali.
Bya Peter Ssaava
Amasasi ganyoose nga poliisi y'e Wakiso egumbulula abatuuze abaaziikudde omulambo nga bagamba nti famire teyinza kuguziika nga tegusaaliddwa.

Ayub Ssali yaziikiddwa ku kyalo Muyomba mu disitulikiti y'e Wakiso kyokka famire n'egaana okumusaalira ng'egamba nti abadde munywi wa mwenge ssaako okulya ennyama y'embizzi.

Abatuuze beesonzeemu ssente ne bagula kkeesi baziikemu Ssali wabula kino poliisi n'ekibalemesa n'eragira famire eddemu okumuziika.

Yakubye amasasi mu bbanga ssaako okukwata abamu ku batuuze abaaziikudde omulambo ne baggalirwa ku poliisi e Wakiso.