TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abalondoola enkulaakulana mu Africa balaze obukulu bw'okukuuma obutonde bw'ensi.

Abalondoola enkulaakulana mu Africa balaze obukulu bw'okukuuma obutonde bw'ensi.

Added 8th March 2021

ABAKUNGU mu byenkulakulana ku lukalu lwa Africa balaze omugaso gw'okukuuma obutonde bwensi mu kaweefube w'okuddabulula ebyenfuna bya Africa ebikoseddwa Senyigga omukambwe(COVID19).  
Bano mu lukung'aana olubadde ku mutimbagano mu kibuga Brazavillee eky'eggwanga lya Congo bategeezezza nti ssenyigga omukambwe akosezza enkulakulana ku lukalu lwa Africa kyokka nga n'embeera y'obudde etabanguse evuddeko obutyabaga bungi obukoseza enkulakulana.
Bw'abadde aggulawo olukung'aana luno omuwandiisi w'olukiiko lw'amawanga amagatte era nga yemuwandiisi wakakiiko akavunanyizibwa ku byenfuna bya Africa Vera Songwe agambye nti ebyenfuna bya Africa bikosebwa obutyabaga obuva kumbeera y'obudde ebitundu  5-9% buli mwaka.
Abakugu bagamba nti okukuuma obutonde bwensi mu Africa kyakuyamba nyo okutonderawo abavubuka n'abakyala emilimu naddala nga batandikawo obukolero obutonotono amawanga g'olukalu lwa Africa okusobola okweyimirizawo.
Songwe ategeezeza nti singa buli muntu atuukiriza oluwalo lwe mu kukuuma obutonde bwensi Africa yakutinta omwaka 2030 wegunatukira.Mulukung'aana luno era bakubaganyiza n'ebirowoozo ku ngeri emikuti gya yintaneti gye giyiza okukozesebwa okuyimirizaawo olukalu lw'omudugavu n'okusalira amagezi ebisomoza amawanga agenjawulo mu Africa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ndagga ng'ayogera eri bannamawulire.

'Amasomero agasomesa ebibii...

Akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti y'e Wakiso, Daniel Ndagga, ategeezezza ng'amasomero agasinga bwe gaziimudde...

Ente ali mu kifaananyi ne banne gye baakwatiddwa nayo.

Babakutte lubona n'ente enzibe

Poliisi y'e Sseeta Nazigo mu disitulikiti y'e Mukono ekutte abasajja babiri abateeberezebwa okuba ababbi b'ente...

Minisita Kuteesa

Minisita Sam Kuteesa ayanju...

MINISITA w'enkolagana y'amawanga g'ebweru, Sam Kahamba Kuteesa ayanjudde lipooti ku bwegugungo obwaliwo nga November...

Myeyu asibiddwa emyaka ena.

Eyakwatibwa n'ebyambalo by'...

SSENTEBE wa kkooti y'amagye e Makindye, Lt. Gen. Andrew Gutti asibye omusajja emyaka ena mu kkomera e Kitalya lwa...

Bakiraaka ba kkooti nga bambadde yunifoomu.

Baleese yunifoomu z'abakozi...

Kaweefube w'okulwanyisa obuli bw'enguzi, essiga eddamuzi limukwasizza maanyi bwe litongoza  yunifoomu  egenda okwambalibwa...