TOP

Abasawo b'ekinnansi bayozaayozezza Museveni

Added 9th March 2021

'Okuwangula kwa pulezidenti Museveni kwatuuka n’okutusitula okugenda ku nsozi era obuwanguzi n’abutuukako. Tweyama okutwala mu maaso emirimu egyatukwasibwa gavumenti omuli okulwanyisa ekisaddaaka bantu, okukuuma obutonde bwensi, okuwandiisa abasawo b'ekinnansi bonna n'okusunsulamu abakyamu.'

Ssalongo Kalim Walyabira (ku ddyo) pulezidenti w'ekibiina kya Uganda n'Eddagala Lyayo ng'ali n'abamu ku baalondedwa mu lukiiko olukulembeze.

Ssalongo Kalim Walyabira (ku ddyo) pulezidenti w'ekibiina kya Uganda n'Eddagala Lyayo ng'ali n'abamu ku baalondedwa mu lukiiko olukulembeze.

Abasawo b'ekinnansi wansi w'ekibiina kyabwe ekya Uganda n'Eddagala Lyaayo bayozaayozezza pulezidenti Museveni okuwangula akalulu akaaliwo nga January 14 era ne bamusiima okubasembeza ku mwanjo mu ggwanga.

Pulezidenti w' ekibiina kino, Ssalongo Kalim Walyabira  yategeezezza nti okuwangula kwa pulezidenti Museveni  kwatuuka n'okubasitula okubatwala ku nsozi bakowoole emisambwa nga bamusabira obuwanguzi n'abutuukako bwe batyo ne beeyama okutwala mu maaso emirimu egyabakwasibwa gavumenti omuli okulwanyisa ekisaddaaka bantu, okukuuma obutonde bwensi, okuwandiisa abasawo b'ekinnansi bonna n'okusunsulamu abakyamu n'ebirala.

Ssalongo Kalim Walyabira (ku ddyo) pulezidenti w'ekibiina kya Uganda n'Eddagala Lyayo ng'ali n'abamu ku baalondedwa mu lukiiko olukulembeze.
Ssalongo Kalim Walyabira (ku ddyo) pulezidenti w'ekibiina kya Uganda n'Eddagala Lyayo ng'ali n'abamu ku baalondedwa mu lukiiko olukulembeze.

Walyabira okwogera bino yabadde ku Royal Motel e Kasubi ku mukolo kwe yayanjulidde olukiiko lwe olujjuvu olw'ekibiina lw'agenda okukulembera nalwo nga ku baalangiriddwa kwabaddeko Peter Ojwani omumyuka, Tenywa Lubale wa mpisa, Kayizi Bahingana mwogezi, Sarah Babumba ssaabawandiisi, Abas Mutyaba, Ezera Gabula wa bya butondebwansi,Geoffrey Kayizi Bahingana mwogezi, Hajjia Abdul Nadduli ku ky'obuyima bw'ekibiina n'abalala.

Eyalondeddwa ku ky'obumyuka, Peter Ojuk yagambye nti baakutandikirawo okukola emirimu naddala okulwanyisa abo abeeyita kye batali era n'alabula ababadde beenyigira mu bikolwa ebikyamu ng'okusaddaaka abantu n'abasawo abatalina biwandiiko bibakkiriza kukola mirimu gya busawo n'alabula okubakwata bakangavvulwe.

Bano basabye ekitongole ekirondoola ebiwerezebwa ku mpewo ekya UCC kiveeyo kyongere amaanyi mu kulondoola abantu abeeranga ku mikutu gy'amawulire era ne balabula  maama Phina ne ssenga Kulanama okukomya okukyessaako nti be bakulembeze babwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...