TOP

Okufa kwa Magufuli bakuyingizzaamu Bamafia

Added 19th March 2021

Waliwo bannansi ba Tanzania abagamba nti Magufuli abadde n’abalabe bangi, kyokka ekyabeewunyisizza kwe kulaba nga bangi ku bano baayanguye okuweereza obubaka obukubagiza ne bagumya eggwanga nti beetegefu okutwala mu maaso emirimu gya Magufuli.

Omugenzi Magufuli.

Omugenzi Magufuli.

Waliwo bannansi ba Tanzania abagamba nti Magufuli abadde n'abalabe bangi, kyokka ekyabeewunyisizza kwe kulaba nga bangi ku bano baayanguye okuweereza obubaka obukubagiza ne bagumya eggwanga nti beetegefu okutwala mu maaso emirimu gya Magufuli.

Waliwo n'abalowooza nti Magufuli okufa kwe kuyinza okuba "okupange" kuba ebikolwa bye eby'okulwanyisa enguzi kuliko abanene bangi be kubadde kukosa. Abadde yakendeeza omuwendo gwa baminisita n'eng'endo z'ebweru w'eggwanga ate nga bye bimu ku bisinga okwettanirwa.

Magufuli naye bukya alya Bwapulezidenti mu 2015 yagaana okugenda mu Bulaaya ne Amerika. Mulimu n'abalowooza nti Magufuli engeri gy'abadde alwanyisaamu corona nga takkiririza mu ddagala lya Bazungu abadde alina kufa aleme kukuba bituli mu kaweefube w'okulwanyisa corona.

Tanzania yalangirira mu luse lw'amawanga agali yaddeko mu by'enkulaakulana mu biseera bya corona era kibadde kimwogezaako ng'omuzira olw'obutateekawo muggalo. Kyokka eddagala lya corona eryasoose okufuluma nga ddoozi eri ku buseere, kyayambye Magufuli okujjukiza nti "nnabagamba ebya corona bya kukola ssente."

Kyokka kino kibadde kivumirirwa abasawo n'abakugu abalaba Magufuli ng'abuzaabuza abantu be ng'ate akimanyi nti corona gy'ali era atta.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...