TOP

Balaze omusika w'omugagga Mulowooza

Added 22nd March 2021

Tewaabaddeewo mikolo gya buwangwa gyakoleddwa nga bwe kitera okubeera mu kwabya ennyimbe omuli okusumika olubugo n’ekifundikwa.

Kenneth Kazibwe Kamya (ku ddyo) omusika wa kitaawe Mulowooza (mu katono).

Kenneth Kazibwe Kamya (ku ddyo) omusika wa kitaawe Mulowooza (mu katono).

Omusika w'omugagga James Mulowooza owa kkampuni ya Mulowooza and Brothers Construction ekola enguudo, alagiddwa awatali kwabya lumbe.

Emikolo gyabadde mu maka g'omugenzi mu zzooni ya Luwafu Kizungu mu munisipaali y'e Makindye, wakati mu kuwakanyizibwa okuva mu b'enganda, ab'ekika ne maama w'omugenzi, Joyce Nabbojja, abaabadde baagala olumbe okuyita mu mitendera gy'obuwangwa.

Maama Nabbojja wamu ne mukyala wa Mulowooza omuto Eva Mulowooza ne mutabani we, abamu ku baana b'omugenzi ne baganda be, n'abeekika ky'Ennyonyi Nakinsige, emikolo baagizize.

Kenneth Kazibwe Kamya, mutabani wa nnamwandu omukulu, Eva Nampeera ye yalagiddwa abantu nti asikidde kitaawe Mulowooza. Tewaabaddeewo mikolo gya buwangwa gyakoleddwa nga bwe kitera okubeera mu kwabya ennyimbe omuli okusumika olubugo n'ekifundikwa.  Kazibwe yalagiddwa jjajjaabwe James Lugwana Katula omukulu w'oluggya n'amukwasa ekitabo Ekitukuvu ne lubuga we Esther Nakyeyune.

Lugwana ayogedde ku kusika omuguwa okubaddewo mu kwabya olumbe lwa Mulowooza omubadde ab'ekika okuyisa ebirango ku mikutu gy'amawulire ebisazaamu emikolo, n'agamba nti, kyakoze akikoze mu mitendera mituufu, kubanga abaana abawala baatuula ne beerondamu omusika oluvannyuma lw'obutabaawo kiraamo, nti y'ensonga lwaki naye alaze omusika.

Kenneth Kazibwe Kamya (ku ddyo) omusika wa kitaawe Mulowooza (mu katono).
Kenneth Kazibwe Kamya (ku ddyo) omusika wa kitaawe Mulowooza (mu katono).

Oluvannyuma lw'okulaga omusika, waabaddewo okusaba okwakulembeddwa Rev. Henry Maguzi Mayega, okuva mu busumba bw'e Gayaza, eyasabidde omusika Mukama amuwe amagezi okukulembera banne obulungi. Yategeezezza nti olutalo oluliwo mu b'enganda luli wakati wa Bukristaayo na buwangwa, kubanga abamu baabadde baagala olumbe luyisibwe mu nnono, nnamwandu n'abamu ku baana kye baagaanyi nga baagala emikolo giyisibwe mu ngeri ya ddiini.Yabuuliridde omusika obutalowooza nti agudde mu bintu, wabula afunye obuvunaanyizibwa bw'alina okutuukiriza, okutwala ebintu bya kitaabwe mu maaso ate n'okugatta ffamire.

Edward Katumba Wamala, minisita w'ebyentambula ng'abadde mukwano gw'omugenzi, yasabye omusika okukola emikwano emirungi nga kitaawe bwe yali n'okubeera omukozi.

Eva Nampeera, nnamwandu wa Mulowooza omukulu yeebazizza abantu abaasobodde okubeerawo ku mukolo wakati mu kusoomoozebwa okubaddewo, n'abasuubiza nti ffamire ya Mulowooza egenda kuba bumu, ng'entalo zonna zaakuggwaawo.

Ye omusika Kenneth Kazibwe Kamya, yeebazizza bannyina okumuteekamu obwesige ne bamukwasa obuvunaanyizibwa okubakulembera n'ategeeza nti, wadde engatto za kitaawe nnene, naye ajja kufuba okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwonna. Yeeyamye okugatta ffamire ya Mulowooza okulaba ng'obumulumulu bwonna obuliwo buvaawo.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...