TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kadaga agugumbudde baminisita ku kusaanyaawo ebibira

Kadaga agugumbudde baminisita ku kusaanyaawo ebibira

Added 22nd March 2021

Kadaga era yalaze obwennyamivu olw'Amateeka amalungi agakoleddwa Palamenti okutaasa obutonde bw'ensi kyokka ne gatassibwa mu nkola n'agamba nti kye kiwadde bassemugayaavu omwagaanya okusaanyawo ebibira awatali abakuba ku mikono.

Sipiika Kadaga (mu kitengi) bwe yabadde atongoza Roots App egenda okulondoola emiti egisimbibwa okutaasa obutonde bw'ensi. Ku ddyo ye Minisita Beatrice Anywar.

Sipiika Kadaga (mu kitengi) bwe yabadde atongoza Roots App egenda okulondoola emiti egisimbibwa okutaasa obutonde bw'ensi. Ku ddyo ye Minisita Beatrice Anywar.

Bya JAMES MAGALA

SIPIIKA wa Palamenti, Rebecca Alitwala Kadaga, agugumbudde baminisita mu Gavumenti b'agamba nti basusse okusaanyaawo ebibira nga basala embaawo, ekyonoonye obutonde bw'ensi.

Kadaga bino yabyogeredde ku Palamenti mu kutongoza omukutu oguyitibwa ROOTs App eyakoleddwa okugulirako n'okusimba emiti egisoba mu bukadde 200 mu myaka etaano egijja mu nteekateeka ewomeddwamu omutwe Kkampuni ez'enjawulo okuli; Uganda Breweries, MTN, Stanbic bank n'endala mu kaweefube w'okutaasa obutonde bw'ensi.

Kadaga yennyamidde  olw'abamu ku Baminisita mu Gavumenti, abeesomye okusaanyaawo ebibira n'ategeeza nti azze yeetooloola ebitundu by'eggwanga ebitali bimu nga yeebuuza ku baani abasaanyaawo ebibira mu bitundu byabwe era  bangi ku Baminisita bazze basongebwamu ennwe n'ategeeza nti Baminisita bateekwa okweddako okusobola okutaasa obutonde.

Sipiika Kadaga (mu kitengi) bwe yabadde atongoza Roots App egenda okulondoola emiti egisimbibwa okutaasa obutonde bw'ensi. Akutte akafukirira ye Minisita Beatrice Anywar.
Sipiika Kadaga (mu kitengi) bwe yabadde atongoza Roots App egenda okulondoola emiti egisimbibwa okutaasa obutonde bw'ensi. Akutte akafukirira ye Minisita Beatrice Anywar.

Kadaga era yalaze obwennyamivu olw'Amateeka amalungi agakoleddwa Palamenti okutaasa obutonde bw'ensi kyokka ne gatassibwa mu nkola n'agamba nti kye kiwadde bassemugayaavu omwagaanya okusaanyawo ebibira awatali abakuba ku mikono. Yasabye Gavumenti okwongera ensimbi mu Minisitule y'Obutonde bw'ensi okulaba nga bakola omulimu gwabwe ogw'okukwasisa amateeka ku bantu bano.

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku Butonde bw'ensi, Beatrice Anywar, yasinzidde ku mukolo guno n'atabukira abantu abasimba emiti kyokka ne batafaayo kugirabirira n'ategeeza nti ekyo tekiyinza kutaasa buttoned. Yasabye nti singa buli Minisitule eteekawo Ssente ez'okuyambako okutaasa obutonde kyakuyamba okubukuuma.

Abakulira amakampuni ag'enjawulo agaatadde ensimbi obukadde 200 mu nteekateeka eno, nga bakulembeddwamu, Alvin Mbugua akulira Uganda Breweries, baasiimye Sipiika Kadaga okuyimirira nabo okuva omwaka oguwedde lwe baatongoza okusimba emiti.

Mbugua era yalaajanidde Bannayuganda okutwala obuvunaanyizibwa okulabirira emiti egigenda okusimbibwa n'ategeeza nti ROOTs App eyatongozeddwa nayo yaakubayamba okulondoola emiti gyonna egigenda okusimbibwa mu myaka etaano.

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...