TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ab'e Mutundwe batabukidde Abayindi abaziba ekkubo

Ab'e Mutundwe batabukidde Abayindi abaziba ekkubo

Added 25th March 2021

ABATUUZE b’e Mutundwe mu zooni ya Kabaawo, bavudde mu mbeera ne batabukira Abayindi ba nnannyini kkampuni ya PRAYOSHA ekola endabirwamu, olw’okuziba ekkubo lye bakozesa, ssaako okuziba emyala egiri mu kitundu.

Abamu ku batuuze nga bawanyisiganya ebisongovu n'Abayindi.

Abamu ku batuuze nga bawanyisiganya ebisongovu n'Abayindi.

Bya VIVIEN NAKITENDE

ABATUUZE b'e Mutundwe mu zooni ya Kabaawo, bavudde mu mbeera ne batabukira Abayindi ba nnannyini kkampuni ya PRAYOSHA ekola endabirwamu, olw'okuziba ekkubo lye bakozesa, ssaako okuziba emyala egiri mu kitundu.

Awali ekkubo Abayindi lye baazibye.

Abatuuze bagamba nti, bino byonna Abayindi babikola, nga bagezaako okubanyigiriza beetamwe bakkirize okubagula obusente obutono ku ttaka lyabwe ekintu kye bagamba nti tekigenda kusoboka.

Bagamba nti, abayindi bano bazze bagula ekyalo, kyokka nga bateekawo embeera enyigiriza n'okutiisatiisa ababa basigaddewo,  olwo nabo bapondooke babagule ku busente obutono nga n'abamu baagala kubagula bukadde busatu, ekintu kye bagamba nti, kya bujoozi nnyo.

Richard Ssendikaddiwa.

Deogratious Owayezu, omu ku banyigirizibwa ku ttaka lino agambye nti, ennaku bbiri emabega omuyindi yabadde ayagala okuziba ekkubo,  ne beekubira enduulu ku poliisi ne babatuuza ne bakkaanya obutakwata ku kkubo,  kyokka beewuunya Abayindi ate okuliziba. Bwe bagezaako okulaga obutali bumativu ate Poliisi edda ku ludda lw'Abayindi ekintu ekibamazeemu amaanyi.

 Ate ye Ssentebe w'ekyalo, Richard Ssendikaddiwa abatuuze bamulumiriza obutabayamba ne bakimuteekako nti yandiba nga yeekoobaana n'Abayindi okubatulugunya nga baziba amakubo n'emyala.

Kyokka ono agamba nti wabaddewo enkaayana nga waliwo omutuuze omu ng'ettaka lye baaliyingiddemu, era tutuuseewo ne poliisi  ne tuyimiriza Abayindi okubaako ekirala kye bakola okutuusa ku Lwokubiri bamale okuleeta abapunta baddemu okupima ettaka lino okulaba ekituufu.  

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amanda

Emigaso gy'amanda

Emigaso gy'amanda Ng'oggyeeko okugafumbisa, amanda gazuuliddwaamu emigaso. Gazigula olususu n'okugoba enkanyanya....

NEZIKOOKOLIMA

▶️ Abaana abakoze ebibuuzo ...

▶️  NEZIKOOKOLIMA: Abaana abakoze ebibuuzo ebyakamalirizo musigale nga mukyali baana awaka.  

Ssempijja ng'asomesa abalimi.

Okugattika ebirime kye kiku...

MINISITA w'obulimi obulunzi n'obuvubi, Vincent Ssempijja asinzidde mu disitulikiti y'e Bukomansimbi n'ategeeza...

Abakristaayo lwe basabira wabweru ku Ssande.

Obulabirizi bw'e Namirembe ...

OBULABIRIZI bw'e Namirembe buyingidde mu nkaayana z'ettaka ly'ekkanisa e Kyanja n'ebugumya Abakristaayo  okusigala...

Jonathan McKinstry (wakati) ng'abuulirira Khalid Aucho (ku kkono) ne Mike Azira (ku ddyo).

Micheal Azira naye annyuse ...

MICHEAL Azira agucangira mu kiraabu ya New Mexico United yeegasse ku bassita ba Cranes babiri abakannyuka omupiira...